Abanoonyi b’obubudamu abasukka mu 400 baayolesezza obuwangwa obwenjawulo nga bajaguza olunaku lw’ababundadunda olukuzibwa buli nga June 20.
Bino byabadde ku kitebe ky’ekitongole kya Young African Refugees for Integral Development (YARID) e Nsambya mu Kampala. Ababundabunda bano babeera mu bitundu ebyenjawulo ebyetoolodde Kampala. Bava mu mawanga okuli; South Sudan, Sudan, Congo DRC, Ethiopia, Eritrea and Afghanistan.

Bano Bannansi ba Sudan
Ebijaguzo byabadde wansi w’omulamwa; Solidarity to action nga byabaddewo ku Lwokutaano nga June 20. Enduulu ey’akaleekeleeke, okusaakaanya n’okuwaana byasaanikidde ekifo kyonna ng’amawanga goolesa ennyambala, amazina, emmere n’emikolo egy’okuwasa. Ne bannayuganda baagyetabyeko okulaga ababundabunda omukwano n’obumu. Era bano baayolesezza ggomesi, kkanzu, ebikooyi, embugo n’ebyambalo by’abanyankole n’abanyoro.
Emikolo gyategekeddwa YARID nga kiyambibwako Kampala Capital City Authority (KCCA), Pilgrim Center for Reconciliation (PCFR), offiisi ya ssaabaminisita n’ebitongole ebirala ebiyamba ababundabunda.

Taata okuva mu Afaghanistan ng'anwesa mutabani we
Bob Mayonza akulira Pilgrim Center for Reconciliation yagambye nti ebijaguzo by’ebyobuwangwa bitujjukiza nti amawanga agenjawulo okukwatagana si kirooto wabula kisoboka era kirimu ebirungi bingi.
“Tuyimirira wamu n’ababundabunda bonna mu ggwanga. Tussaamu ekitiibwa obusobozi bwabwe, obuvumu ne bye bakola byonna okukulaakulanya eggwanga,” bwe yagambye.
Nga tuyita mu buwangwa bwaffe, tusobola okwerabira ebitunyiga, okusonyiwa n’okwezzaamu amaanyi.
Ye Robert Ogali, okuva mu YARID yeebazizza bannayuganda okusembeza abanoonyi b’obubudamu n’okubaagala. Agamba nti obuwangwa bwaffe bukola kinene nnyo mu kubeerawo kwaffe ng’abantu. Butujjukiza kiki kyetuli na wa gyetuva.

Taata okuva mu Afaghanistan ng'anwesa mutabani we
Uganda erimu ababundabunda abasukka mu kakadde kalamba n’emitwalo nsanvu okusinziira ku offiisi ya ssaabaminisita.
Emikolo emikulu egy’okukuza olunaku lw’ababundabunda gyabadde mu disitulikiti y’e Kiryandongo