ABAYIZI 1,524 bafunye dipu-looma ne diguli mu masomo ag’enjawulo ku matikkira ga Uganda Christian University e Mukono agoomulundi ogwa 26.Abaatikkiddwa kwabaddeko abakazi 860 (ebitundu 56 ku 100) ate abasajja baabadde 664 (ebitundu 44 ku 100) ku mukolo ogwabaddewo ku Lwokutaano.
Emikolo gy’okutikkira gyakulid-dwa Cansala wa UCU, Ssaabalabi-rizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kaziimba Mugalu eyaten-derezza abaddukanya ettendekero olw’okukuuma omutindo. Abayizi abaatikkiddwa yabasabye bye bayize okubissa mu nkola, bireme kukoma mu bitabo.
Omugenyi ow’enjawulo ku mukolo yabadde Dr. Philip Ryken,Pulezidenti wa Wheaton College esangibwa mu America eyay-ogedde ku bukulu bw’okugatta okusoma n’obukkiriza.
Abayizi 49 be baafunye diguli nga bayitidde mu ddaala erisem-bayo ng’omuyizi eyasinze bonna ye Timothy Kirabo abadde asoma ebya Procurement and Logistics Management eyaddiriddwa Diana Nansubuga eyasomye ebya Sci-ence in Computer Science.Amyuka Cansala ya UCU, Aaron Mushengyezi yagambye nti balina bingi bye batuuseeko mu kisaawe ky’okunoonyereza, okusomera ku mitimbagano, okuggulawo amatabi amapya awamu n’okwongera ku bu-kugu bw’abakozi.
Mushengyezi yasabye Gavumenti ekendeeze ku misolo gy’ewooza yunivasite z’obwannannyini era bafune ne ku mutemwa gw’okunoonyereza oguweebwa yunivasite za Gavumenti endala.Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi naye yatikkiddwa diguli eyookubiri mu by’obukulembeze
.PULEZIDENTI ABUULIRIDDE ABAZADDE
Pulezidenti Museveni, yasabye abazadde okwagazisa abaana baabwe okusoma amasomo ga ssaayansi ne tekinologiya.Byabadde mu bubaka bwe yatisse RCC wa Kampala, Jane Muhindo Asiimwe ku kabaga k’amatikkira ga Desire Mwe-baze eyafunye diguli mu busawo n’okulongoosa. Mwebaze mu-tabani wa Kamisona wa poliisi akolera mu kitongole kya Logis-tics and Engineering.Mwebaze abadde aweererwa Pulezidenti era yamukoledde akabaga k’okumukulisa emisomo akaabadde ku City High School e Kololo era n’amuwa n’ekirabo kyabukadde butaano
.Museveni yagambye nti eki-yambye amawanga nga Japan, China, Buyindi n’amalala oku-kulaakulana amangu kwe kussa essira ku masomo ga ssaayansi.Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba, mu bubaka bwe yatisse Kamisona Charles Ssebambulidde yamus-abye akozese bulungi byasomye asobole okugatta ettoffaali ku nkulaakulana y’eggwanga