PULEZIDENTI Museveni yeyamye okwongera ssente za PDM mu bantu bwategezezza nti bangi kubaziganyudwamu ekibayambye okwongera ku nnnyingiza yaabwe mu maka.
Asinzidde mu maka g’omulunzi Isaac Luzze ku kyalo Kingidde eyatandikawo pulojekiti y’okulunda enkoko n’embizzi ng'entandikwa yagifuna mu ssente za PDM zebaafuna okuva mu muluka gw’e Migadde.

Pulezidenti Museveni ng'ali n'abaana ba Luzze
“Nnnebaza nnyo Luzze eyawuliriza enjiri yaffe n'akozesa akakadde kamu okugoba obwavu mumaka ge. Twalwanira wano wadde ba Luzze baali baana bato era bwetwava mu nsiko twakimanya nti ensi okukulakulana waliwo ebirina okukolebwako.” Museveni bweyategezezza.
Yagambye nti baatekawo ssente z’eggombolola kyokka abaazirimu ne bazilya, kwekusalawo okutekawo enkola ya NAADS kyokka nabyo ne biribwa era mu 2013 kwekusalawo okuleeta Operation Wealthy Creation nga byakugoba bwavu mu banaku.
Ku kino twasalawo tuleete ssente okusinziira ku miruka era kwekureeta enkola ya PDM olwo Operation Wealt Creation nenjirekera abaserikale kuba baali bagamba nti abaserikale begabira bokka.
Yasinzidde wano neyeyama nti agenda kwongera ssente mu bantu kuba yonna gyayise akizudde nga bangi bafunyemu wadde nga bakyayagala okusindikibwamu okusobola okulimira n’okulundira ewafunda.

Pd 1
Awadde Luzze obukadde 24 okusobola okugula ente y’olulyo ssaako ka ttukutuku akagenda okumuyambako okutambuza emmere y’ebisolo ayongere okukulakulanya pulojekiti ye ey’okulunda.
Luzze yategeezezza Museveni nti yafuna akakadde 1 mu 2023 keyakozesa okugulako embizzi eyamuyamba okukalakulanya pulojekiti olwo nagula n’enkoko nga kati awezaawo enkoko 200.
Yebazizza nnyo Museveni olw’okuvaayo naddukirira abanaku nagamba nti entandikwa gyeyafuna emuyambye nnyo nga kati alowooza kukyakuzimba kiyumba kinene mwalundira enkoko ssaako okugaziya eby’obulimi.