Ababiikira aba Good Samaritan Sisters beekokkodde ababbi b’ettaka

Ababiikira aba Good Samaritan Sisters e Mukono beekokkodde obubbi bw’ettaka obukudde ejjembe bwe bagamba nti ettaka ly’ekibiina abanyazi baagala kulibamalako.

Msgr. Richard Kayondo ne Sr. Basemera mu kifaananyi n’abamu ku bayizi abaatikkiddwa.
By Henry Nsubuga
Journalists @New Vision

Ababiikira aba Good Samaritan Sisters e Mukono beekokkodde obubbi bw’ettaka obukudde ejjembe bwe bagamba nti ettaka ly’ekibiina abanyazi baagala kulibamalako.

Sr. Theresa of Avila Basemera, akulira ettendekero ly’eby’emikono erya St. Maria Gorreti Girls’ Vocational Training Centre erisangibwa e Kikubankima mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono yategeezezza nti ku yiika z’ettaka 400, Kalidinaali Emmanuel Nsubuga ze yalekera ekibiina e Mukono, yiika nga 200 abanyazi baazezza nga n’erisigaddewo beesomye okulitwala.

“Ffe ng’ettendekero tulinako yiika asatu, tulinako kkonventi, eddwaliro lya Good Samaritan Sisters Health Centre III e Takajjunge naye ku ddwaliro lino eriwa abantu obujjanjabi, ate abanyazi b’ettaka beesomye okutwala ettaka ly’ekibiina ssaako okwewera okutuusa obulabe ku Babiikira,” Sr. Basemera bwe yategeezezza.

Abayizi ba St. Maria Gorreti Vocational Girls' Education Centre nga bajaguza oluvannyuma lw’okutikkirwa.

Abayizi ba St. Maria Gorreti Vocational Girls' Education Centre nga bajaguza oluvannyuma lw’okutikkirwa.

Okwogera bino, Sr. Basemera yabadde annyonnyola Msgr. Richard Kayondo, vviika jenero w’essaza ly’e Lugazi bwe yabadde akulembeddemu amatikkira g’ettendekero ag’e 14 ng’abayizi 170 be baatikkiddwa ne bafuluma ne ssatifikeeti ne ddipulooma. Bano baakuguze mu kutunga, okufumba, ba kkalaani, n’okusiba enviiri.

Yategeezezza nti batandise ku nteekateeka ey’okuzimba ekikomera ku ttaka ly’ettendekero eriwezaako yiika 30 ng’ekigendererwa kwe kulaba nga balitaasa ku babbi b’ettaka abatandise okulisongamu engalo.

Wabula ono yalaze ennaku okulaba nti wadde bazze beekubira enduulu eri be kikwatako n’ab’eby’okwerinda naye teri kya maanyi kye babakoleddewo.

Ng’ayanukula, Msgr. Kayondo yalabudde abeesomye okubba ettaka ly’amasinzizo n’agamba nti bano kye bakola kijja kubateeka mu bulabe kuab banyiiza Katonda.

Ono yawadde abayizi okufuba okuteeka mu nkola ebibasomeseddwa n’agamba nti ekirungi kwe kuba nti bano bakuguse mu bya mikono.

“Tubasuubira okutandikawo emirimu muleme kugenda waka ate kutandika kunoonya mirimu. Abayize okutunga mutandike amaduuka agatunda engoye, mukole ebirabo by’emmere, abayize okukola enviiri nammwe mutandike,” bwe yategeezezza.

Sr. Maria Gemma Nalubwama, ku lwa nnankulu w’ekibiina kya Good Samaritan Sisters, yasabye abazadde okufuba okuwa abaana ebikozesebwa bwe babasindika mu matendekero nga lino ng’olwo lwe bajja okusobola okuteeka mu nkola bye bayize