Abanoonyi b’obubudamu mu Uganda bagenda kwolesa talanta mu misinde egy’okwetooloola ebyalo egimanyiddwa nga Urban Refugee Marathon egitegekeddwa nga 20 omwezi guno.
Emisinde gino gisuubirwa okubeera egy’ebbugumu nga gigenda kwetabwamu abaddusi abava mu mawanga agalimu abaddusi bannakinku okuli Eritrea, Ethiopia, Somalia ne Nigeria.
Okwanjula enteekateeka y'emisinde
Gino gya mulundi gwakubiri okutegekebwa offisi ya Pulezidenti mu kitongole ekivunaanyizibwa ku banoonyi b’obubudamo nga kyegattidwako ebitongole by’abavubuka ebitali bimu mu ggwanga.
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’abanoonyi b’obubudamo mu ggwanga n’ebweru, Abbey Walusimbi Kigozi y’atongozza emisinde gino eginaddukirwa mu bitundu bya Kampala ebitali bimu nga gyakusimbulwa ku ssomero lya Old Kampala ku makya.
Abadde n’abakulira ebibiina by’abanoonyi b’obubudamo okuva mu mawanga okuli Sudan, Eritrea, Ethiopia, DR. Congo ne Burundi ku Makindye Forest Park.
“Nkowoola abettanira emisinde okwegatta mu banoonyi b’obubudamo okwolesa talanta. Guno mukisa eri abantu bonna okusisinkana abanoonyi b’obubudamo okuwanyisiganya ebirowoozo eby’enkulakulana,” Omubaka Walusimbi bwe yategeezezza.
Yagambye nti Omumyuka wa Ssabaminisita asooka era minisita w’obuvanjuba bwa Afrika avunanyizibwa ku mbeera z’abantu, Rebecca Alitwala Kadaga y’agenda okusimbula emisinde gino era omuddusi omukulu.
Okwanjula enteekateeka z'emisinde gy'Abanoonyi b'obubudamu
Walusumbi yasiimye Pulezidenti Yoweri Museveni olwa Uganda okubeera ku mwanjo nsi yonna okulwanirira eddembe ly’abanoonyi b’obubudamo nga baweebwa ebbeetu nga munnayuganda omuli okukola bbizineensi, okusoma, okufuna ettaka n’ebirala.
Abaddusi baakuvuganya mu kiromita 5 ne 10.
Egya kiromita 5 gyakuyita ku Old Kampala Road okuyitira ku Sir Apollo Kaggwa n’okudda.
Egya kiromita 10 gyakuyitira ku Old Kampala Road, Wandegeya, Ku bbiri, Bwaise, Sir Apollo Kaggwa, Nakulabye, Mengo SSS, Bakuli, Namirembe n’okudda.
Emijoozi omuddukirwa gya 20,000/= okusinziira ku bategesi