Bya Denis Kizito
EDDAGALA eriri mu bukadde 72 erya [Hydroxyuea] lye liweereddwaayo ekitongole kya Spring Phamacy okulaba nga liyamba ku bantu abalina obulwadde bwa nalubiri (sikoseero).
Bino bibadde ku Spring Pharmacy mu Kampala mu nsinsinkano y’ebitongole binnakyewa ebyewaayo okulaba nga biyamba ku bantu abalina ekirwadde kino ekya nalubiri nga libakwasiddwa Dr. Bonifance Otim.
Otim, ategeezezza nti eddagala eriweereddwaayo ligenda kuyamba abantu abasoba mu 3,000 nti ng' enteekateeka eno bagitandikidde mu Kampala nti wabula nga bagenda kugibunya n’ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ono asabye gavumenti okubakwasizaako ku ddimu lino lyebaliko basobole okufutiza ekirwadde kino mu ggwanga.
Sarah Bukirwa,n g’ono y’omu ku balwadde ba nalubiri abafunye eddagala lino ategeezezza nti basanyufu olw’ebitongole by’obwanekyewa bino okuvaayo ne babalowoozaako bw’atyo n’asaba enkola y'okubunyisibwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.