OMUKAZI eyalabikira mu katambi ng’abba omwana ku kkanisa mu Kisenyi asimbiddwa mu kkooti.
Sarah Nalubiri 28, yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Martins Kirya ku kkooti ya LDC e Kakugube okumpi ne Makerere n’asomerwa omusango gw’okubba n’okukukusa omwana n’ebigendererwa eby’okumufunamu ensimbi.
Kigambibwa nti nga September 8, 2024 mu zzooni ya Kiganda - Kisenyi mu Kampala, Nalubiri yabba n’okukukusa omwana Era Ashaba ow’emyaka 2.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu omuwaabi wa gavumenti, Collins
Oumo lwategeezezza kkooti ng’okunoonyereza ku musango guno bwe kukyagenda mu maaso ne lusabayo obudde n’olunaku okutegeeza kkooti okunoonyereza we kunaaba kutuuse.
Omulamuzi Kirya yategeezezza Nalubiri nga kkooti eyo bw’eterina lukusa kuwuliriza musango gwa kikula ekyo kuba munene gwetaaga kkooti enkulu.
Wano we yamutegeerezza nti bw’aba ayagala okweyimirirwa, alina kugenda mu kkooti enkulu wabula ng’ekyo waakukikola ng’amaze kusindibwa mu kkooti eyo.
Yasindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga October 7, 2024 okumanya okunoonyereza ku musango we kunaabeera kutuuse.