POLIISI ya Old Kampala eggalidde omukazi eyagenze ku kkanisa ya Christianity Focus Center n’abbayo omwana ow’emyaka 2 n’amutwala ewuwe n’aleka bazadde be mu bweraliikirivu.
Agnes Nalubiri ye yakwatiddwa n’aggalirwa ku poliisi ya Old Kampala oluvannyuma lw’okugenda ku kkanisa yÓmusumba Kiganda nga yeefudde omu ku basabi ku Ssande nga September 8, 2024 wabula n’abbawo omwana Era Ashaba ow’emyaka 2 n’amutwala n’abeera naye.
Dickson Musiime Ngásitudde Muwala We Eyabadde Abbiddwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti Nalubiri yagenda ku kkanisa ya Kiganda nga yeefudde omu ku basabi era okumutwala yakozesa muganda we okumuyita okusobola okumusemberera wabula mu kugenda kkamera ne zimukwata ebifaananyi.
Yagambye nti oluvannyuma lw’omwana okubbibwa, taata w’omwana Dickson Musiime yasattira wamu n’abatwala ekkanisa kwe kugenda ku poliisi ya Old Kampala ne baggulawo omusango n’okuwaayo ebifaananyi ebyakwatibwa kkamera z’oku kkanisa ezaalaga engeri omwana gyey atwalibwamu.
Musiime yassaawo ekirabo kyab ukadde 2 eri anaamutuusa ku muwala we. Yategeezezza nti ku Lwokubiri nga September 10, 2024 abakyala babiri okuli Nalubiri ne Muganda we Agnes Namanda baagenda ku kkanisa mu Kisenyi ne bategeeza nga omwana bwe babadde naye nga bwe baamulonze mu kubbo ekyawaliriza okutemya ku poliisi n’ebakwata.
Yagambye nti oluvannyuma lwa poliisi okwetegereza ebifaananyi ebyakwatibwa kkamera, kyazuuliddwa nga Nalubiri ye yabba omwana n’amutwala wabula bwe yamutuusa awaka muganda we n’amulagira amuzzeeyo gye yamuggya era n’amugamba nti agenda kumuwerekerako.
Yagasseeko nti abaserikale baakunyizza Nalubiri n’ategeeza nti omwana ye yamubba wabula n’atayogera kigendererwa kye Yalina.
Ku Lwokusatu eggulo abaserikale baamututte gy’asula okwongera okukola okunoonyereza ate ye Namanda ne bamuleka kuba ye yabuulidde abaserikale nti Nalubiri yamulabira awo ng’aleese omwana n’amumugobya. Nalubiri yaguddwaako omusango gw’okuwamba omwana oguli ku ffayiro nnamba CRB 2224/2024.