Jjajja atubidde n'omuzzukulu avunda emikono n'amagulu alaajanidde abazirakisa okumuyamba

Nnamukadde Mary Nakalema, abeera ku kyalo Bukaana ekisangibwa mu muluka Nakagongo mu ggombolola y'e Mateete Rural mu ggombolola y'e  Mawogola atubidde n'omwana omuwala ow'emyaka 12

Jjajja atubidde n'omuzzukulu avunda emikono n'amagulu alaajanidde abazirakisa okumuyamba
By Noah Kintu
Journalists @New Vision
#Buyambi #Jjajja #Bulwadde #Mikono #Magulu #Mawulire

Nnamukadde Mary Nakalema, abeera ku kyalo Bukaana ekisangibwa mu muluka Nakagongo mu ggombolola y'e Mateete Rural mu ggombolola y'e  Mawogola atubidde n'omwana omuwala ow'emyaka 12 ng'ono avunda omukono n'amagulu ebikubibwa obulwadde obutannaba kutegeerekeka.

Namuddu Ng'asitudde Muzzukulu We Atakyalina Maanyi Mu Mubiri.

Namuddu Ng'asitudde Muzzukulu We Atakyalina Maanyi Mu Mubiri.

Namuddu Kizza, ali mu bulumi obw'ekitalo era abeera waka ne jjajja we eyagambye nti bazadde be baamusuulawo n'asigala ku bwa jjajja. Ono nga n'amaziga gamuyitamu alaajanidde abazirakisa okumudduukirira asobole okufuna obujjanjabi awone.

Omukadde yagambye nti atambudde mu bulwaliro obuwerako kyokka ne bakamutema nti alina kweyongerayo mu malwaliro manene. Nakalema yagambye nti obusobozi bwa malwaliro gano tabulina kyokka ne bazadde b'omwana nabo baamusuulawo ate naye teyeesobola.Emu Ku Bbaluwa Ya Kalwaliro Mwe Bamujjanjabira.

Emu Ku Bbaluwa Ya Kalwaliro Mwe Bamujjanjabira.

 
Kkansala Florence Nansamba akiikirira omuluka Nakagongo era ayamba ku mukadde ono n'omwana ategeezezza nti yatutte omwana ono ewa ddokita era n'abasindika e Mulago.

Akubidde abakulembeze omulanga okuvaayo babayambe oba okutuusa eddoboozi lyabwe eri abantu nga bayita ku Bukedde, abasobola okubakwatizaako bafune obubaka buno.

Omusawo Davis Magala, akulira eddwaaliro lya Magala medical centre ategeezezza nti baaleeta Kizza ku ddwaaliro ne bakizuula nti yalwala nnalubiri wabula nga yeetaaga obujanjabi obw'amaanyi oba bamutwale ebweru w'eggwanga.