Abalimi mu bitundu bye Acholi bakubidde Gavumenti omulanga
ABAKULEMBEZE okuva mu bitundu bya Acholi balaajanidde Gavumenti okubadduukirira mu by'obulimi kibayambe okufuna emmere ey'okulya ko n'okweggya mu bwavu.Bano nga bakulembeddwamu Otim Francis basinzidde mu lukung'aana lwa Bannamawulire olutuuziddwa ab'ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue ku wofiisi zaabwe ezisangibwa e Bugoloobi ne bategeeza nti abalimi mu bitundu bya Acholi bayita mu kusoomozebwa okutagambika olw'obutaba na bikozebwa byetaagisa mu kulima.
Abalimi mu bitundu bye Acholi bakubidde Gavumenti omulanga
By James Magala
Journalists @New Vision
ABAKULEMBEZE okuva mu bitundu bya Acholi balaajanidde Gavumenti okubadduukirira mu by'obulimi kibayambe okufuna emmere ey'okulya ko n'okweggya mu bwavu.
Bano nga bakulembeddwamu Otim Francis basinzidde mu lukung'aana lwa Bannamawulire olutuuziddwa ab'ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue ku wofiisi zaabwe ezisangibwa e Bugoloobi ne bategeeza nti abalimi mu bitundu bya Acholi bayita mu kusoomozebwa okutagambika olw'obutaba na bikozebwa byetaagisa mu kulima.
Otim anyonnyodde nti abalimi abangi mu bitundu bya Acholi bakaluubirizibwa nnyo okufuna ensigo ez'omulembe nga n'abamu abalimira kulya kwokka ekintu ekikuumidde ekitundu kyabwe emabega ne balajanira Gavumenti okubaddukirira waakiri anabo ebafunire ku Tulakita ezirima nga bw'ezze ekola mu bitundu ebirala.
Ayongeddeko nti ettaka lingi mu bitundu bino erizze libbibwa olw'okubanti teririiko kikolerwako n'ategeeza nti singa Gavumenti efaayo okutumbula eby'obulimi kijja kubayamba okulwanyisa ekizibu kino.
Ye Omukwanaganga w'emirimo mu kibiina kya NEED Asuman Odaka asinzidde eno n'alajanira Gavumenti enoonyereze ku Ssente z'esindika mu disitulikti ez'enjawulo okukulakulanya Bannayuganda n'ategeeza nti ezimu zibbibwa abakulembeze awatali abakuba ku mukono