Bya Mukasa Kivumbi
ABALAMAZI okuva mu bitundu by’e Kisumu mu Kenya beebamu ku basoose okutuuka e Lugazi mu Lugendo lwabwe olubatwaala e Namugongo mukujjukira Abajulizi ba Uganda abattibwa ku Mulembe gwa Kabaka Mwanga
Bangi ku Balamazi abaavudde e Kenya begattiddwaako bannaabwe abaavudde mu Disitulikiti za Busoga , Bukedi , Bugisu b’atuuse e Lugazi nga ebibinja byonna bikulembeddwa abajaasi ba UPDF ne basooka okuwummulirako ku Kerezia ya St. Kizito e Lugazi n’oluvannyuma ne beyongeray.
Abalamazi okuva e Kenya nga batuuse e lugazi
Bagambye nti bannaabwe abamu bafunye obubenje okuli okutomerwa Bodaboda abamu ne bazzibwaayo abalala ne baweebwa obujjanjabi ne baddamu okutambula nga balamaga
Waliwo ekibinja ekimu ekyavudde e Mayuge bano bweb’atuuse e Lugazi b’asoose kugenda mu Ddwaaliro e Kawolo ne basooka okusabira abalwadde abali kubitanda ne balyooka beyongerayo
Bakira bwebatuuka ku Kerezia e Lugazi bayingira ne basooka okweyala n’okuvunamira Katonda nga bwebamwebaza okubatambuza n’abatuusa mu kifo kino nga bakyali balamu
Abalamazi okuva e Kenya nga batuuse e Lugazi
Abalamazi abakrisitaayo basabye Saabalabirizi w’e Kanisa ya Uganda babakolere entekateeka yonna gyebayitira nga balamaga babalage webasobola okuwummulirako naddala ku makanisa agaliraanye oluguudo nga bwekiri ku bannaabwe abakatoliki bwebakola ku balamazi baabwe nti naye bo babonabona nnyo mu kkubo ne babulwa ne webanaabirako