Abakulembeze e Wakiso bennyamidde ku ddagala erigema Covid-19

AKULIRA eby’obulamu mu Wakiso, Mathias Lugolobi yennyamidde olw’eddagala erigema Corona okuggwawo ekiretedde okugema mu disitulikiti okutambula akasoobo.

Abakulembeze e Wakiso bennyamidde ku ddagala erigema Covid-19
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision

Lugolobi yagambye nti okugema abantu doozi ey’okubiri, minisitule yabawerezza doozi enkumi ttaano zokka kyagamba nti nabaafuna doozi eyasooka tezaabamaze.

“Tulina obuzibu nti waliwo abagala okugemebwa omulundi gwabwe ogusooka ate nga waliwo nabagala okumalayo doozi zabwe. Eddagala eryaatuwereddwa lyabadde ttono nnyo nga n’abaagemebwa ogwasooka tebaaweddeyo.” Lugolobi bweyayongeddeko.

Yagambye nti Wakiso erina abantu abasoba mu bukadde 2 n’ekitundu abalina okugemwa naye abakagemwako tebawera mutwalo.

Ye akulira eby’enjigiriza mu disitulikiti ye Wakiso, Fredrick Kiyingi Kinobe yategezezza nti Wakiso erina abasomesa emitwalo 4 naye abakagemwako bali mu 300.

Yagambye nti Gavumenti yandibadde ebawa omusawo ow’enjawulo buli ddwaliro eriri ku ggombolola ng’ajanjaba basomesa bokka. Yagambye nti n’abakozi abakola ku masomero nga sibasomesa Gavumenti yandibadde ebarowozaako nabo nebatekebwa kumwanjo.

Kiyingi yalabudde abasomesa abetegese okujingirira satifikeeti z’okugemwa nategeeza nti anaakwatibwa, wakukwatibwa avunanibwe sinakindi minisitule emuyimirize ku mulimu.

Kyokka Ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso, Matia Lwanga Bwanika yalaze okutya olw’emivuyo egitandise okweyorekera mu kugema nga Wakiso doozi eyajiwereddwa ate emiwendo tegikwatagana nagiri ku lukalala buli disitulikiti lwe yafunye.

“Twafunye doozi enkumi ttano, kyokka ku lukalala lwa buli disitulikiti eddagala lye yafunye, Wakiso balaga nti yafunye doozi omutwala gumu. Kati tubadde tukyali ku kya ddagala kuba ttono, ate netufuna ekizibu ekirara nti kati litandise okubulankanyizibwa.” Bwanika bweyayongeddeko.

Wakiso yemu ku disiotulikiti ezisinze okuberamu abalwadde ba Corona bukya kirwadde kino kibalukawo. Kyokka kubantu obukadde 2 n’ekitundu, okugema tekunnaba kutukako wadde mu makkati g’ennamba eyo.