Abakulembeze e Kalungu bajjukizza Gav't ku mbeera y'amalwaliro embi

ABAKULEMBEZE e Kalungu okuli omubaka wa Palamenti owa Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu ne ssentebe wa disitulikiti eno Ahmed Nyombi Mukiibi, bajjukiza Gavumenti obuvunaanyizibwa bwayo obwokwongera okutereeza eby'obujjanjabi n'embeera y'amalwaliro bye bagamba nti tebinnabeera ku mutindo gweyagaza.

Abakulembeze e Kalungu bajjukizza Gav't ku mbeera y'amalwaliro embi
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
ABAKULEMBEZE e Kalungu okuli omubaka wa Palamenti owa Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu ne ssentebe wa disitulikiti eno Ahmed Nyombi Mukiibi, bajjukiza Gavumenti obuvunaanyizibwa bwayo obwokwongera okutereeza eby'obujjanjabi n'embeera y'amalwaliro bye bagamba nti tebinnabeera ku mutindo gweyagaza.
 
Ssewungu agamba nti Gavumenti tenakola kimala kusembeza basawo bakugu,eddagala n'ebikozesebwa eby'omulembe ku ndwadde enkambwe kyagamba nti kiviriddeko abantu bangi abatasobola kwesasulira mu malwaliro g'obwanannyini ag'ebbeeyi nti ne bafundikira nga bafudde obunaku wadde nga basasula omusolo.
 
Omusomesa Najjoba Bw'abadde Afaanana

Omusomesa Najjoba Bw'abadde Afaanana

Ssentebe Mukiibi yayongeddeko nti Gavumenti ekintu kyokka ky'eyinza okukolera abantu mu ngeri y'okubaddiza kwe kulongoosa empeereza naddala eby'obulamu,eby'enjigiriza n'entambula.
 
Baabadde ku kyalo Kitembo mu ggombolola ya Kalungu Rural mu kuziika omusomesa Rose Najjoba, abadde mukyala wa Joseph Mubiru akulira akakiiko ka disitulikiti eno akabaririzi.
 
Nsubuga Kibindula ku lwa ffamire yategeezezza nti omugenzi yafudde ky'ajje alongoosebwe ekizimba mu mutwe e Lubaga ng'obujjanjabi bwonna nti bwasasuddwa eggye lya UPDF. 
 
Bwanamukulu w'ekigo ky'e Kyamuliibwa Fr. Richard Kakeeto eyakulembeddemu okusabira omugenzi yasabye Abakristu okujjumbira ekisiibo ekigenda mu maaso nti Katonda mw'anaayita okwanukula ebyetaago byabwe.
 
Omubaka Ssewungu Ng'ayogera Eri Abakungubazi Ku Mbeera Y'ebyobulamu Mu Ggwanga

Omubaka Ssewungu Ng'ayogera Eri Abakungubazi Ku Mbeera Y'ebyobulamu Mu Ggwanga