ABAKULISITU mu ssaza lya Kasana Luweero balamaze ku kiggwa ky'omujulizi Kizito omuto e Waluleeta mu Luweero ne basabibwa okubeera omumuli gw'okubunyisa enjiri abantu badde eri Katonda.
Omusumba w'essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa asinzidde ku kigo e Waluleeta n'atendereza abajulizi omwali Kizito omuto abaayagala ne bafiiririra eddiini yaabwe.
Asabye abakulisitu obutaddirira mu kukkiriza bazuukuke bezze bugya naddala abasajja balwanyise ebikolwa ebibi ebimaamidde eggwanga omuli obubbi, ettemu, okusinza ebitaliimu n'ebirala bakole Katonda byayagala

Abaana abeetabye mu kusaba
"Omulambo guno tekyali bafiiririra ddiini nga ba Kizito ekiraga nti tuvuga livansi kuba n'abamu basigadde Waka ng'abavudde mu bitundu ebirala omuli n'abazungu bazze okulamaga.
Abasabye okwagala ekifo kino nga bannanyinikyovera bakijjumbire kikulaakulane.
Ssabawolereza w'obwakabaka bwa Buganda Christopher Bwanika yeetabye ku mukolo n'atuusa obubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga omubadde okusaba abantu okwewala enjawukana mu by'obufuzi.
Omubaka omukazi owa Luweero Brenda Nabukenya, owa Katikamu South Hassan Kirumira Lukalidde, ssentebe wa disitulikiti ya Luweero Erasto Kibirango n'abalala beetabye ku mukolo