Abantu bataano abagambibwa okukola efujjo ne bookya n'amayumba olw'okuwangula omuntu waabwe mu kamyufu, bakwatiddwa.
Efujjo libadde Buwologoma mu Ggombolola y'e Bukanga mu disitulikiti y'e Luuka abantu bwe bakkidde buuca n'ennyumba z'abamu ku bawagizi booyo eyawangudde mu kamyufu ne bazookya n'okwonoona ebintu ebirala.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Micheal Kasadha, agambye nti bano bawagizi booyo eyabadde yasimbyewo ku L C5 , abAalumbye abawagizi booyo eyawangudde.
Asabye abantu okusigala nga bakkakkamu okulonda kuleme kutussaamu njawukana era n'atiisa okukwata abo bonna, abenyigira mu fujjo.