Poliisi ekutte nnakawere ne nnyina, abagambibwa okusuula omwana mu kaabuyonjo n'ekigendererwa eky'okumutta.
Kaabuyonjo gye baasuddemu omwana
Bino, bibadde ku kyalo Buyita B cell mu Bugabula ward mu Ibukula town Council e Namutumba Poliisi ekutte Deborah Kyozira 22 omuyizi wa S4 ne nnyina Rose Wampeewo 58 nga musomesa mu Bugwi P/S e Ibukula nga babalumiriza okugezaako okutta omwana gwe baasudde mu kaabuyonjo.
Ekikolwa kino, kigambibwa nti baakikoledde mu kaabuyonjo y'akalwaliro akamu mu kitundu, omuwala ono eyabadde olubuto bwe yeefudde agenze okweyamba, omwana n'omusuula mu kinnya nga bali ne nnyina.
Omwogezi wa poliisi mu. Kitundu ekyo Micheal Kafaayo, agambye nti omwana, basobodde okumuggyayo nga mulamu, n'atwalibwa okufuna obujjanjabi.