Poliisi ekutte basatu ku by'okutigomya abatuuze nga bakozesa ebijambiya

Kino kiddiridde ababbi okulumba abatuuze ku byalo mu Ggoma Division, e Nabweru, Kyaliwajjala, Ssonde , Seeta town ne Namanve era ne babba amasimu ne kalonda omulala.

Poliisi ekutte basatu ku by'okutigomya abatuuze nga bakozesa ebijambiya
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Poliisi #Kukwata #Bantu

Poliisi ekutte abantu basatu abagambibwa okuba ababbi abeebijambiya abaludde nga batigomya abantu.

Kino kiddiridde ababbi okulumba abatuuze ku byalo mu Ggoma Division, e Nabweru, Kyaliwajjala, Ssonde , Seeta town ne Namanve era ne babba amasimu ne kalonda omulala.

Wabula aba bodaboda ne poliisi, basobodde okuwondera abantu bano, ne bakwata Steven Asiimwe 26, Musa Musinga 22 n'omulala Nsubuga ne bamukuba amasasi n'aweebwa ekitanda e Mulago. Babasanze n'ebiso bisatu.

Omwogezi wa poliisi Kituuma Rusoke agambye nti omuyiggo gw'abalala, gukolebwa. Ayongeddeko nti baliko ne pikipiki gye baazudde n'abanyazi bano.