Poliisi egambye nti ensonga za polofeesa Kateregga ne mukyala we yazikwasa kkooti

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa, poliisi egamba nti ebigambo bingi ebirudde nga bibungeEsebwa nga Polofeesa Kateregga bw’atayambiddwa kimala.

Poliisi egambye nti ensonga za polofeesa Kateregga ne mukyala we yazikwasa kkooti
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Kateregga #Polofeesa #Nsonga #Mukyala

Poliisi etangaazizza ku nsonga za Prof Badru Kateregga ne mukyala we Jolly Shubaiha Kateregga nti erina we yazituusa n'ezikwasa kkooti ezivunaanyizibwako mu kiseera kino.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa, poliisi egamba nti ebigambo bingi ebirudde nga bibungeEsebwa nga Polofeesa Kateregga bw’atayambiddwa kimala.

Kitegeezeddwa nti ensonga zino , zaawaabwa nga Nov 7, 2024  era mu kunoonyereza ffayiro poliisi n'egisindika ew’omuwaabi wa gavumenti okubawabula.

Nga Feb 18, 2025 kyazuulibwa nti obutakkaanya bw'abano ababiri, bwali buva ku byanfuna era ne basindikibwa mu kkooti ezitaawulula enkaayana era ne babawabula nga bayita mu balooya baabwe.

Baagasseeko nti omukyala okumukaka okuva mu maka, oba okuva mu bintu, si busobozi bwa poliisi nti wabula kkooti era ensonga mu kiseera kino, gyeziri.

Bagambye nti kikyamu okuwaayiriza poliisi nti teyambye mu nsonga eno, kuba si buvunaanyizibwa bwayo.