Abagambibwa okusaddaaka omwana bakwatiddwa

Abantu bana abagambibwa okuba mu lukwe olwasaddaase omwana omuwala ow'emyaka Omukaaga ne bamusalako n'ebimu ku bitundu by'ekyama, bakwatiddwa. 

Abagambibwa okusaddaaka omwana bakwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abantu bana abagambibwa okuba mu lukwe olwasaddaase omwana omuwala ow'emyaka Omukaaga ne bamusalako n'ebimu ku bitundu by'ekyama, bakwatiddwa. 

Bino byabadde Kisoga mu muluka gw'e Bukasa mu Ggombolola y'e Kimennyedde e Mukono, abatemu bwe basse Mariam Naddumba omulambo gwe ne bagusuula mu nnimiro. 

Omwana yabuze nga May 14 oluvannyuma jjajjaawe Jane Nyaburu n'agwa ku mulambo gwe nga May 15 mu nnimiro yakasooli nga gusaliddwako ebitundu ebyekyama.

Poliisi ekutte Moses Sennoga, Jackson Ntege, Florence Zalwango, ne jjajjaawe Jane Nyaburu. 

Bonna abakwatiddwa batuuze b'e Kisoga era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Metropolitan Luke Oweyesigyire