Abagagga beeyiye mu kuziika muganda wa Ssebalamu e Masaka

OMUSUUBUZI Billy Tamukedde asombodde abagagga abeetabye ku mukolo gw'okumuziika.

Abagagga beekuluumuludde okugenda okuziika munnaabwe Billy Tamukedde abadde muganda w'abagagga John Ssebalamu ne Bosco Muwonge eyafiiridde mu Kabenje. Wano nga ssentebe w'ekibiina ekibagagga ekya Tuli
By Hannington Nkalubo
Journalists @New Vision

Yafudde ku Lwokuna ekiro ku luguudo lwa Ntebe Express High Way. Tamukedde abadde muganda w’abagagga okuli; John Ssebalamu ne Bosco Muwonge. Yaziikiddwa ggulo e Kasanje okumpi ne Viiramaria .

Yaziikiddwa ku Lwomukaaga ku  bijja bya Ffamire ya Ssebalamu ne Muwonge ebisangibwa ku kyalo Kasange okumpi ne Viramaria e Masaka.

Nnamwandu wa Billy Tamukedde ayitibwa Josephine Nambooze ng'ayogera eri abakungubazi.

Nnamwandu wa Billy Tamukedde ayitibwa Josephine Nambooze ng'ayogera eri abakungubazi.

Abagagga mu bibiina ebibagatta okuli ekya TUSSAKIMU ne G6 mu  Kikuubo baaweddeyo.

Abalala kwabaddeko omugagga Hamis Kigundu amanyiddwa nga HAM.

Abagagga b'omu Kampala bannannyini bizimbe beekulumuludde okugenda okuziika musuubuzi munnaabwe Billy Tamukedde abadde muganda w'abagagga John Ssebalamu ne Bosco Muwonge. Yafiridde mu Kabenje kuluguudo lw'eNtebe Express High . Wano nga ssentebe w';abagagga ba Tulibumu mu Kikuubo Peter Ssentale ng'akulembeddemu banne okuteeka ekimuli ku mugenzi.

Abasuubuzi nga bakungubaga.

Abasuubuzi nga bakungubaga.

Baakulembeddwa ssentebe waabwe Peter Ssentale . Ku bagagga abeetabye mu kuziika kwabaddeko; Deus Kakeeto, Martin Lutayisire , Richard Kasozi,  Andrew Lusiba, Daud Mutebi, Hajj Norman , Fredrick Ntale. John Ssenyonga, Ssalongo Nyenya nannyini kizimbe kya woteeri etunudde mu muzikiti gwa Old Kampala, Richard Kateregga , Ssentongo Sseremba, Gerald Mukisa , Richard Kasozi n’abalala okuli Saad Lukwago .

Nnamwandu ne bamulekwa b'omugenzi

Nnamwandu ne bamulekwa b'omugenzi

Abalala kwabaddeko aba bbaasi okuva mu Kisenyi Bus Terminal , baddereeva okuva mu Kisenyi ne Namayiba okuli n’abakulembeze abenjawulo . 

John Ssebalamu eyabadde ne mugandawe Bosco Muwonge beebazizza abasuubuzi okubalinnyira nga bafiiriddwa muganda waabwe Tamukedde.

Tamukedde abadde n’amaduuka mu Kisenyi, woteeri n'ebbaala e Kibiri ssaako amayumba e Kyengera ne mubifo ebyenjawulo.