Abagagga abasse mu nnyanja okulya obulamu babuze

ABAGGAGGA ababadde bagenze mu nnyanja okulambula ebipam­pagalu by’emmeeri ya Titanic n’engumbagumba z’abaagirimu, babuze.

Ku kkono Harding owa Action Aviation ne Hamish Hamish Harding.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#abagagga #nnyanja #kulya bulamu #babuze

Bya Musasi Waffe

ABAGGAGGA ababadde bagenze mu nnyanja okulambula ebipam­pagalu by’emmeeri ya Titanic n’engumbagumba z’abaagirimu, babuze.

Bifekeera Hamish Harding okuva e Bungereza ne bino­jjo Shahzada Dawood okuva e Pakistan ne mutabani we Suleman ow’emyaka 19, kw’ossa abagagga abalala okuli Paul – Henry Nar­geolet ne Stockton Rush akulira kkampuni etambuza abalambuzi b’oku mazzi eya Ocean Gate be bali mu kunoonyezebwa oluvan­nyuma lwa lubbira gye baabad­demu nga bagenda okulambula emmeeri ya Titanic okubulira mu mazzi.

Lubbira abagagga bano mwe baabadde yabuze ku byuma ebigirondoola nga yaakamala essaawa emu n’eddakiika 45 ng’ebbidde mu kkirommita nnya mu mazzi g’eriyanja lya Atlantic. Ababanoonya bagamba nti lubbira eno yabadde yaakatambulako kkirommita 700 okuva ku mwalo gw’e Newfoundland e Canada

Amagye ga Canada ne America mu kiseera kino gali mu kusat­tira nga ganoonya lubbira eno eyitibwa ‘The Polar Prince’, okusobola okununula abaggagga bano, kubanga omukka gwe bassa (Oxgyen) gwe baagenze nagwo mu mazzi w’osomera bino tegukyaweza essaawa 50.

                                          Paul Henry Nargeolet

Paul Henry Nargeolet

Eggye lya America ery’okumazzi lyasindise ennyonyi bbiri ekika kya C-130 Hercules okunoonya lubbira eno nga basinziira ku mazzi ku ngulu. Bano beegattiddwaako en­nyonyi za Canada okuli C-130 ne P8 nga zino ziriko ebyuma ebiron­doola amaloboozi agali wansi mu nnyanja okuzuula ekifo ekituufu lubbira eno w’eyinza okuba nga we wagamidde nga bagoberera tekinologye agiriko.

OKULAMBULA TITANIC

Enkola y’okulambula ebipan­pagalu bya Titanic, yatandikibwa kkampuni y’obwannanyini eya Ocean Gate, era mu 2021 ne 2022, abantu baagenda ne balam­bula emmeeri eno, eri ku ntobo y’eriyanja lya Atlantic era emirundi gyombi tewali yabula.

Ekigendererwa ky’okulambula emmeeri eno, kya kuwa mukisa abanoonyereza bongere okutegeera ebituufu ebyaliwo ng’emmeeri eno ebbira. Titanic yatandika okubbira ng’eriko abantu abasoba mu 1,500 era nga luno lwe lugendo lwayo olwasooka teyatuuka mu America era lwe lwakoma.

Abagenda okulambula Titanic, baseeyeeya ku mazzi olugendo lwa kkirommita 595 okuva ku mwalo gwa Newfoundland bwe bamala ne babbira mu mazzi olu­gendo olumala essaawa munaana okutuuka ku mmeeri eno etudde ku ntobo y’eriyanja.

Buli mutwe gwa mulambuzi asa­sula doola 250,000 (eza Uganda 926,095,500/-).

Lubbira eno nga tennabula, naggagga Harding, eyabadde ku ttiimu eno yawandiise ku mukutu gwe ogwa Facebook nti, obunnyogovu n’omuzira byalaba bye bikyasinze okuba eby’omutawaana mu bbanga lya myaka 40 ku kizinga ky’e New­foundland.

Titanic yafiirako abakyakaze abasoba mu 1,500 nga April 14, 1912. Yali eva Southampton mu Bungereza okudda e New York mu America. Akabenje kano kazannyiddwaamu firimu n’okuwandiikibwako obutabo