Bannnakibiina kya NRM e Wakiso baloopedde Pulezidenti Museveni ebinafuyizza ekibiina

BANNAKIBIINA kya NRM balaze Pulezidenti Museveni ekyamalamu ekibiina kya NRM obuganzi mu disitulikiti ye Wakiso ne bamusaba ensonga ezo zitunulwemu nga betegekera okulonda kwa 2026. 

Museveni ng'ai e Wakiso
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
BANNAKIBIINA kya NRM balaze Pulezidenti Museveni ekyamalamu ekibiina kya NRM obuganzi mu disitulikiti ye Wakiso ne bamusaba ensonga ezo zitunulwemu nga betegekera okulonda kwa 2026. 
 
Bano baasinzidde ku kisaawe kya disitulikiti e Wakiso, Museveni bweyabadde abasisinkanye wakati mu nteekateeka gyaliko ey’okulambula Wakiso okulaba enkola ya PDM bwetambudde mu disitulikiti. 
 
Ssaabakunzi wa NRM Rosemary Senninde yategeezezza nti okulonda kwa 2021 ebifo ebisinga baabifirwa mu Wakiso olw’okuba abaali besimbyewo tebaasindikibwamu buyambi ekyavirako abamu n’okulemwa okukuba kampeyini. 
Bannakibiina kya NRM nga baaniriza Pulezidenti Museveni

Bannakibiina kya NRM nga baaniriza Pulezidenti Museveni

 
“Ow’ekitiibwa Pulezidenti, nga tugenda mu kalulu ka 2026, abantu abatukwatidde bbendera tusaba obalabemu n’obuyambi bwa ssente, kino kijja kutuyamba okutalaaga ebitundu eby’enjawulo nga tewali kusomoozebwa kwonna.” Senninde bweyayongeddeko. 
 
Yategeezezza nti ensonga endala ezaabavirako obuzibu kuliko ey’abalonzi baabwe abaatisibwatisibwa nga bangi tebaalonda, nasaba Museveni kumulundi guno kisalibwe amagezi mubwangu. 
 
Ye ssentebe wa NRM mu disitulikiti ye Wakiso era nga yegwanyisa eky’obubaka bwa Busiro North mu Paalamenti Mayanja, yasabye Museveni akwate ku nsonga y’okubunyisa amasannyalaze mubitundu by’omubyalo. 
 
Ensonga endala yamusabye okutambuza amazzi mubyalo kuba bangi batambula engendo mpanvu okugakima. Mayanja era yasabye Museveni enguudo ezisinga mu Wakiso okuziyiwa kkolaasi kiyambe abasuubuzi okukendeeza kubudde bwebatambula nga batwala emmaali mu butale. 
Muveni ng'ali n'aba NRM

Muveni ng'ali n'aba NRM

 
Yasabye Museveni abaterewo ettendekero ly’ebyemikono kuba nti eririeo abaana ye beyunira liri mu disitulikiti ye Kayunga ng’olumu entambula ebamenya. Yasabye ne Busiro North Museveni gye yalwanira agilambulemu ak’ensusso kuba nti mukulambula kuno, yarekeddwa ebbali.
 
Museveni mukwogera yategeezezza nti bagezezaako okukola enguudo ez’enjawulo nagamba nti era bakyakola, kyokka abantu balina okufaayo kubutya bwebagenda okwongeramu ennyingiza mumaka.
 
Yagambye nti bangi yareeta enteekateeka nnyingi ezikulakulanya Kyokka nga ssente zibulankanyizibwa era kwekusalawo okureeta enkola ya PDM nga ssente zigenda butereevu kumuntu.
 
Yategezezza nti omulamwa gwa NRM kati gutambulira ku kubeera n’emirembe, okuwagira enkulakulana, okubeera abagagga nga bayita mu kulima n’okulunda ebireeta ssente, eby’emikono, amakolero amanene nebirara.
 
“Tetugenda kubeera kubyakuyimba NRM oyee oyee kyokka, wabula njagala tutandike okuyimba oluyimba lw’obugagga, okutondawo emirimu olwo buli muntu abeere nekyayingiza mu nsawo.” Museveni bweyayongeddeko.