Mugumya eyali omuyambi wa Besigye tamanyiddwaako mayitire

EYALI omuyambi wa Dr. Kiiza Besigye ayitibwa Sam Mugumya abuziddwaawo abantu abagambibwa okuba abaserikale kyokka ebitongole ebikuuma ddembe bimwegaanye nti tebimulina.

Sam Mugumya
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EYALI omuyambi wa Dr. Kiiza Besigye ayitibwa Sam Mugumya abuziddwaawo abantu abagambibwa okuba abaserikale kyokka ebitongole ebikuuma ddembe bimwegaanye nti tebimulina.
Yawambiddwa ku Lwokubiri abasajja abaabadde balina emmundu okuva ku wooteeri ya NIM esangibwa mu Nyamitanga Division mu kibuga ky’e Mbarara.
Ekitongole kya poliisi n’amagye byesammudde nti bo tebimulina. Omwogezi wa UPDF Felix Kulaigye yategeezezza nti bo tebamanyi ku nsonga eyo kubanga abaamuwambye tebaabadde mu ngoye za magye.
Ate Poliisi nayo yeegaanye nti bo si be bamulina era nti ebitongole bya Gavumenti tebiwamba bantu wadde okubabuzaawo.
Kyokka mukwano gwa Sam Mugumya ayitibwa Moses Byaruhanga yagambye nti yasangiddwa ng’alya kyankya ku wooteeri , abasajja abaabadde n’emmundu ne bamuvumbagira ne bamuyingiza mmotoka y’ekika kya Drone ne bamubuzaawo.
Mugumya yamala emyaka ng’aggaliddwa mu kkomera lya Ndolo e DRC kyokka abadde yayimbulwa oluvannyuma lw’okusibwa ebbanga eddene. Yayingira ekibiina kya Dr Kiiza Besigye ne Loodi Mmeeya Erias Lukwago era ku Lwokubiri Lukwago yavumiridde ekyakoleddwa n’ategeeza nti bagenda kunoonyereza abaakikoze