Bya Peter Ssuuna
OMUVUBUKA agambibwa okutiisatiisa muganzi we, kitaawe w'omuwala amukubye mizibu n'amutwala ku poliisi okutuuka mu kkooti nayo n'emusindika ku limanda e Luzira.
Juma Bukenya 28, mutuuze w'e Masanafu mu Lubaga ng'akola nga makanika y'asimbiddwa mu kkooti ya Nateete - Lubaga e Mengo, omulamuzi Adams Byarugaba n'amusomera ogw'okutiisatiisa omuntu.
Kigambibwa nti okuva mu January 2024 Bukenya abadde atiisatiisa omuwala Ratifah Nantume okutuusa lwe yeekubidde enduulu ono n'akwatibwa n'avunaanibwa.
Olwamaze okumusomera omusango, Bukenya ng'amaziga gamuyitamu yategeezezza omulamuzi nti omuwala oyo baludde nga beeyagala wabula lumu yamukubira essimu ng'amuyita okujja ewaabwe kwe kusangayo kitaawe eyamukuba emiggo egyamuviirako okufuna ebisago.
Yalaze kkooti essaati ebunye omusaayi n'ategeezezza nti ogwo gwonna gwa kumukuba n'asaba kkooti emuyimbule naye olw'okuba teyabadde na bamweyimirira, yasindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga April 16, 2024.