Abooluganda nga bali wamu ne Poliisi y'e Namayina, bali mu kunoonya omuvubuka ow'emyaka 27 , e yabuze mu ngeri etannategeerekeka.
Ismail Nanoka 27, ng'abadde abeera Manyangwa e Gayaza, ye yabuze ku Lwomukaaga okuva awaka era nga mu kiseera kino, takubikako kimunye.
Omu ku booluganda ng'abeera ku Jomayi Estate , yategeezza nti abadde aliko amaka w'akola nti kyokka abafumbo gy’akola baafunyeemu obutakaanya ye n'atambula n'agenda okutuusa kKati, tebamuwuliza.