Amawulire

Majembere atenderezza akulira eby'ensimbi mu State House Jane Barekye olw'okujja wansi mu bantu ne banoonyeza Mzee akalulu

SSENTEBE wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, atenderezza akulira ebyensimbi mu maka g’obwa pulezidenti Jane Barekye, olw’obutatuula mu ofiisi navaayo n’ajja wansi mu bantu okuwenja akalulu ka pulezidneti Museveni,  kyagambye nti nabo kibanguyirizza okukawenja era nga basuubira obuwanguzi obw’amaanyi omulundi guno.  Majembere atenderezza akulira eby'ensimbi mu State House Jane Barekye olw'okujja wansi mu bantu ne banoonyeza Mzee akalulu 

Majembere ng'ali mu nsisinkano n'abawagizi ba NRM e Lubaga
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

SSENTEBE wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, atenderezza akulira ebyensimbi mu maka g’obwa pulezidenti Jane Barekye, olw’obutatuula mu ofiisi navaayo n’ajja wansi mu bantu okuwenja akalulu ka pulezidneti Museveni,  kyagambye nti nabo kibanguyirizza okukawenja era nga basuubira obuwanguzi obw’amaanyi omulundi guno.

Majembere ng'ayogera n'abawagizi ba NRM mu Lubaga

Majembere ng'ayogera n'abawagizi ba NRM mu Lubaga


Majambere agambye nti,  Barekye bweyatambula mu ba bodaboda ne mu bantu ababeera mu bifo by’omugotteko (Ghetto), abantu baafuna essuubi era bbo nga ba nna NRM  bafunye akalembereza nti kati akalulu kabanguyidde okunoonya, kuba buli gwebatuukako mwanjulukufu era mwetegefu okwegatta ku mugendo gwa NRM.
Neyeebaza Barekye obutasigala mu ofiisi naasobola okutuuka wansi mu bantu, yeebazizza ne ssabawandiisi wa NRM Richard Todwong n’omuwanika wa NRM mu ggwanga Barbara   Nekesa Oundo, baagambye nti,  bafuddeyo okutuukiriza ebyetaagisa mu kunoonya akalulu ka NRM, era ebintu bitambula bulungi.

Majembere ng'ali mu bawagiz ba NRM e Lubaga

Majembere ng'ali mu bawagiz ba NRM e Lubaga


 Abadde asisinkanye abakulembeze ba NRM  mu miruka egy’enjawulo e Lubaga  okubadde ogwa  Ndeeba baasisinkanidde ku univasite ya St. Lawrence nab’e Namungoona basisinkanidde ku ssomero lya Namungoona Kigobe.
Abasabye obutatuula,  kubanga ebikozesebwa byonna omuli ebipande by’okutimba na byonna ebyetaagisa weebiri, baanoonye akalulu ka pulezidenti Museveni n’amaanyi nju ku nju wamu n’abakwatidde NRM bendera ku bifo eby’enjawulo, basobole okuwangulira waggulu mu kulonda okujja. 

Aba NRM mu Lubaga nga nga bawaga okuyiira Mzee akalulu

Aba NRM mu Lubaga nga nga bawaga okuyiira Mzee akalulu


Alaze essanyu nti, okusinziira ku nkungaana zaabwe bwezitambula, ku luno pulezidenti Museveni  akalulu k’e Kampala naddala Lubaga gyatwala,  agenda kukawangulira waggulu.
Abadde yeegattiddwaako abakwatidde NRM bendera ku bifo eby’enjawulo mu Lubaga okubadde; Charles Ssemogerere eyeesimbyewo ku kya meeya wa Lubaga, Ibrahim Buyinza ayagala ekya kansala wa LCV  Lubaga North, Deo Kaggwa ayagala obwa kanslaa bwa Lubaga n’abakulembeze abalala.

Majembere ng'asisinkanye abawagizi ba NRM e Lubaga

Majembere ng'asisinkanye abawagizi ba NRM e Lubaga


Oluvannyuma agabidde ba ssentebe ba NRM ku byalo ebipande bya pulezidenti Museveni okugenda okubitimba wamu n’obutabo obwogera ku birungi Muzeeyi byakoledde eggwanga ne gyaliggye.
Tags: