Amawulire

Ow'emyaka 18 basanze afiiridde mu mwala e Buyende

Abatuuze b'e Kinyoro mu Lugazi, baguddemu ekiyongobera omwana wa munnaabwe, bw'asangiddwa mu mwala ng'afudde. 

Ow'emyaka 18 basanze afiiridde mu mwala e Buyende
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abatuuze b'e Kinyoro mu Lugazi, baguddemu ekiyongobera omwana wa munnaabwe, bw'asangiddwa mu mwala ng'afudde.

Omuvubuka ono Ibrah nga wa myaka 18, kigambibwa nti abaddeko obulwadde obumutawaanya era nga yabuze ennaku nga bbiri kyokka ne basanga omulambo gwe mu mwala oguva ku Cathedral okudda e Ggerere nga mufu.

Nnyina w'omwana ono, kigambibwa nti omwana we omuwala eyali atandise okusuna amabeere, yasaddaakibwa gye buvuddeko omulambo ne bagusuula mu kinaabiro, nga mu kiseera kino, asigadde ttayo!

Tags:
Poliisi
Kufa
Mwala
Buyende
Kufiira