Abadde agenze okugulirira Poliisi okumuddiza ebizibiti bamuktte n'enguzi ne gamumyukau

Poliisi ekutte ssentebe w’ekyalo n’omukozi we kubigambibwa nti baabadde batwalidde omu ku baserikale ba Poliisi e Katwe enguzi.Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yategeezezza nti ssentebe wa Wansanso LCI okumpi n’ekizimbe kya Muganzirwazza-Yosse Lumala Kaweesa ye yakwattiddwa n’omu ku bakozi be ayitibwa Paul Kimuli nga batwalidde omu ku baserikale baabwe nnamba 66444-ayitibwa Joseph Muda enguzi nga baagala abafunire ebizibiti bya ppiki ezaakwatibwa gye buvuddeko nga ziteeberezebwa okuba enzibe.

Yosse Lumala Kaweesa ng'atunula binsobedde oluvannyuma lw'okukwatibwa
By Stuart Yiga
Journalists @New Vision

Poliisi ekutte ssentebe w’ekyalo n’omukozi we kubigambibwa nti baabadde batwalidde omu ku baserikale ba Poliisi e Katwe enguzi.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yategeezezza nti ssentebe wa Wansanso LCI okumpi n’ekizimbe kya Muganzirwazza-Yosse Lumala Kaweesa ye yakwattiddwa n’omu ku bakozi be ayitibwa Paul Kimuli nga batwalidde omu ku baserikale baabwe nnamba 66444-ayitibwa Joseph Muda enguzi nga baagala abafunire ebizibiti bya ppiki ezaakwatibwa gye buvuddeko nga ziteeberezebwa okuba enzibe.

ssente ezaabadde zireeteddwa Yosse Lumala Kaweesa

ssente ezaabadde zireeteddwa Yosse Lumala Kaweesa

Ppiki zino zaakwatibwa mu kikwekweto Poliisi kye yakola mu Zooni y’e Wansanso ekiri mu Muluka gw’e Kibuye II mu Divisoni y’e Makindye mu Kampala.

Poliisi yategeezezza nti be baakwata ne ppiki zino okuli James Kaggwa, Hassan Kizito n’abalala baasindikibwa ku limanda oluvannyuma lw’okuggulwako emisango gy’obubbi mu kkooti e Makindye.

Bano okukwatibwa kyaddirira abatuuze b’e Mutundwe okwekubira enduulu nga bagamba nti ababbi baali basusse okuteega abantu ne bababba.

Kino kyawalirira Poliisi okugumba mu kifo kino ekiro era baali bali awo nezireeta Kaggwa ng’azze n’owa Bodaboda nga ye munne aliko w’agumbye.

Yosse Lumala Kaweesa nga bimusobedde

Yosse Lumala Kaweesa nga bimusobedde

Amangu ago, Kaggwa yavumbagira owa Booda eyali amuvuze n’ayita munne amuteme n’ekigendererwa eky’okumubbako ppiki olwo abaserikale kwekuvaayo mu kkava we baabadde ne bamukwata.

Bano oluvannyuma baatwalibwa ku Poliisi y’e Katwe era ng’eno gye baalookoomera Jamir Kateregga nti yabagulako ppiki ze babeera babbye.

Poliisi yasitukiramu n’esalako sitoowa ya Kateregga omusuubuzi w’ebyuma bya ppiki e Kibuye gye yasanga ppiki ezisoba mu 120 eziteeberezebwa okuba enzibe kw’osa n’endala 50 ze yali amaze okutema sipeeya.

Amangu ddala ng’akwattiddwa, Kateregga yakkiriza nti yali agula ppiki enzibe kyokka n’ategeeza yali yakoma okukolagana n’abavubuka bano mu December, w’omwaka gwa 2022, olw’ensonga nti kumpi buli ssente ze yali akola zaali zigweera mu kumala misango gya ppiki ze baali bamubbira buli lwe baabakwatanga.

Wabula Kizito oluvannyuma yakola katemba ku Poliisi bwe yatandika okukaaba ng’Ente. Munne yategeeza nti aliko Ente gye yabba mu bitundu by’e Buikwe era okuva olwo, n’atandika okukaaba nga yo.

Mu kikwekweto ekirala, ekitongole kya Poliissi ekikkessi ekya Crime Intelligence nga kikulembeddwamu Ismael Ssennono, baakwata omuvubuka Ali Ashraf Kasim eyakazibwako erya ‘Mutooro’, oluvannyuma lw’okugezaako okusogga omu ku baserikale be ekiso.

Poliisi yali egenze ku muzigo kw’asula e Nakulabye mu Zooni ya Susaana, okumukwata oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti yoomu ku kibinja ky’abavubuka abapangisa bbooda nga beefudde abasaabaze kyokka olutuuka awaziyivu ne baatta abavuzi bbooda ne bakuulita nayo. 

Yosse Lumala Kaweesa nga bimusobedde

Yosse Lumala Kaweesa nga bimusobedde

Banne abaali bamaze okukwatibwa okwali; Dauda Ssekate Wasswa ne munne Waiswa be baamulonkoma nga bagamba nti ewuwe gye baali batereka bye bakozesa okutemula aba bbooda.

Poliisi yazuula ebintu omuli; empingu, embazzi, ebiso, n’ejjambiya gye yali akwese mu mutto gw’entebe, amasimu, Ttivvi, n’ebintu ebirala bingi. Ono yabatuusa ku munnaabwe omulala ayitibwa Sulaiman Ssekamwa n’ategeeza nti y’abakulira mu bubbi bwa ppiki.

Wadde ng’abatuuze baali baagala okumugajambula, Poliisi yabalemesa era bw’etyo n’ewandagaza amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza, Poliisi yakizuula ng’ezimu ku ppiki ze baazuula zaali zabbibwa Kenya ne bazireeta e Kibuye okuzikyusa ‘Chassis namba basobole okuddamu okuzitunda.

Omusango guno guli ku fayiro bamba CRB: 1950/2022.

Kigambibwa nti okuva Poliisi lwe yakwata ab’akabinja k’abagambibwa okuba ababbi ba ppiki, ssentebe abadde apeeka abaserikale buli kiseera ng’ayagala bamuddize ezimu ku ppiki ze baakwata ng’ebizibiti asobole okubwaaamu ssente obujulizi obuluma be baakwata bubule basobole okubayimbula amangu.

Nguzi 13

Nguzi 13

Wano Poliisi weyasinzidde n’emuyita nga beefudde abakkirizza okusakwe olwabawadde ssente ne bamugyimba empale okukkakkana ng’akwattiddwa wamu n’omu ku bavubuka be yabadde atutte okumuyambako okuzuula ppiki ennya saako yingini ssatu bye yabadde ayagala bamuddize.

Ssentebe ebigambo byamukalidde mu mumwa n’ebyokwogera ne bimubula munne yalabye babayingiza mu kaduukulu n’amulumiriza nti ye yalumusuddemu.  

Kinajjukirwa nti mu 2021, alipoota eyafulumizibwa ekitongole ky’obwannakyewa ekya National Integrity Survey, yateeka Poliisi mu kifo ekisooka mu kulya enguzi mu Uganda yonna.

Okunoonyereza kw’ekitongole kino kyateeka abaserikale ba bulijjo (General Police) mu kifo ekisooka  n’ebitundu 70 ku kikumi,  ne baddirirwa ttulafiki n’ebitundu 67 ku buli kikumi, ab’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Criminal Investigations Directorate ne kigoberera.

Ezimu ku piki-Piki Yosse Lumala Kaweesa zaabadde azze okununula

Ezimu ku piki-Piki Yosse Lumala Kaweesa zaabadde azze okununula

Ebitongole ebirala ebinoonyereza ku buli bw’enguzi okuli ekya Transparency Internations, ky’ekimu ku bizze biteeka ekitongole kya Poliisi mu kifo ekisooka mu kulya enguzi mu ggwanga Uganda.

Ekitongole kya National Bureau of Statistics, nakyo kyakola okunoonyereza ku lw’ekitongole kya Kaliisoliiso wa gavumenti nabo ne bakizuula nga Poliisi y’esinga ebitongole bya gavumenti ebirala mu kulya enguzi.

Okunoonyereza era kwalaga ng’’ekitongole kya kkooti kye kikwata eky’okubiri mu buli bw’enguzi ne kiddirirwa akakiiko akataawulula enkaayana z’ettaka, ne minisitule y’ettaka okutwalira awamu, bano ne bagobererwa amalwaliro amanene (Hospitals), n’obulwaliro obutono (Health Centres)

Obukiiko obugaba emirimu ku disitulikiti bwateekebwa mu kifo kya mukaaga mu kulya enguzi mu ggwanga lyonna, ne baddirirwa ebitongole by’obulimi okuli ekya National Agricultural Advisory Services (NAADs) n’ekya bonna bagaggawale (Operation Wealth Creation).