Ababbi beeyambisiza ekiti ne bamenya edduuka ly'omusuubuzi e Kazo
ABBABI abeeyambisiza ekiti ne baggula edduuka ne babbamu eby'okunywa bawuniikirizza abantu nga bebuuza obukodyo bwe beeyambisa ne babba mukasirise nga tewali awulira.
Ababbi beeyambisiza ekiti ne bamenya edduuka ly'omusuubuzi e Kazo
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
Bino bibadde Kazo mu ggombolola y'e Nansana ababbi abataategeerekese bwe baamenye edduuka lya Janat Nagirinya ne badduka n'ebyokunywa ebimu nga ekyayambye ono yabadde tasuzizzaamu ssente.
Nagirinya ategeezezza nti yasibyewo edduuka lye eggulo akawungezi ku ssaawa 11 ng'alina olukiiko ewaka mu Kinywarwanda e Nansana nkyokka akedde kufuna simu kuva eri mulirwana we nti ewuwe baamenye ne bakuuliita n'emmaali ye.
Dsc 0395
Poliisi okuva e Nabweru ezze ne yeetegereza embeera era n'aggyibwako sitatimenti okubaako we batandikira okukola okunoonyereza.
Atwala ebyokwerinda mu kitundu kino Elias Mutyaba ategeezezza nga obubbi bwe bususse e Kazo n'agamba nti ne bwe bakwata ababbi ne babakwasa poliisi ebata ate ne baddamu buto okubatigomya nga kati kino nabo kibasusseeko ku ngeri gye bayinza okumalawo obumenyi bw'amateeka mu kitundu kyabwe.