Ababbi bazzeemu okusala waya z'amasannyalaze e Nakasongola!

Ayogerera poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti waya zabbiddwa Nabiswera era poliisi yazudde ebyakozeseddwa okuzisala.

Ababbi bazzeemu okusala waya z'amasannyalaze e Nakasongola!
By Samuel Kanyike
Journalists @New Vision
#Amawulire #Nakasongola #Babbi #Kusala waya

ABABBI abatannategeerekeka bazzeemu okusala waya ku bikondo e Nakasongola ekitadde abatuuze ku bunkenke, okufiirwa bizinesi n'okubeera mu kibululu.

 

Ayogerera poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti waya zabbiddwa Nabiswera era poliisi yazudde ebyakozeseddwa okuzisala.

 

Gye buvuddeko, ababbi baasaze ebikondo mu Katuugo Town Council ne Kakooge Sub county ne babbako waya nga zibadde zaakazzibwako.

 

Twineamazima yategeezezza nti ab'obuyinza baabategeezezza ku bubbi buno ne basitukiramu era bali mu kunoonyereza.

 

Yagambye nti mmita za waya  eziwera 50 ze zabbiddwa nga zaasaliddwa ku bikondo mukaaga wakati w'essommero lya Mulonzi P/S n'akabuga ka Mulonzi.

 

Kiteeberezebwa nti ababbi olwamaze okuzingako waya baazisibye ku pikipiki ne bakuuliita nazo nga poliisi ebayigga nga bwe bakolagana n'abeekitongole ky'amasamnyalaze ekya UEDCL okulaba nga bazzaako waya.

 

Poliisi esabye abaliko kye bamanyi ku bubbi buno okugituukirira basobole okubulwanyisa.