Abadiventi bafunye Ssaabalabirizi omupya

AMAWULIRE g’okulondebwa nga Ssaabalabirizi omuggya, Omusumba Samuel Kajoba 67, naye gaamukanze. “Nange nkyali mu kwewuunya! Sinnabitegeera naye ebya Mukama bwebityo.

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi omulonde, Samuel Kajoba, Pasita Abner De Los Santos, amyuka akulira ekkanisa y’Abadiventi mu nsi yonna ne Pasita Dr. Moses Maka.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AMAWULIRE g’okulondebwa nga Ssaabalabirizi omuggya, Omusumba Samuel Kajoba 67, naye gaamukanze. “Nange nkyali mu kwewuunya! Sinnabitegeera naye ebya Mukama bwebityo.
Bangi babeera ne bye basuubira naye mu byonna okusalawo kwa Katonda kweyolese,” Kajoba bwe yategeezezza eggulo.
Kajoba yazze mu bigere bya Dr. Moses Maka, eyafuuliddw saabawandiisi wa ECD mu
kkanisa y’ensi yonna. Yalangirirwa ku Lwokubiri mu lukiiko olwa East – Central Africa Division (ECD) mu Nairobi, Kenya. Mu lukiiko lwe lumu bassaabalabirizi 10 ab’ensi za
Africa nabo baalondeddwa okuli Uganda, Burundi, DRC, Djibouti, Eritrea, Ethiopia, Kenya, Rwanda, Somalia, South Sudan ne Tanzania.
Ssaabalabirizi Kajoba yategeezezza nti emyaka 8 gy’amaze nga omulabirizi wa Central Uganda, olunyiriri lw’asinga okwagala luli mu Timoseewo (1:12), mwe yeesigama okuggya amaanyi okukola emirimu gya Mukama era kw’agenda okwesigama okukola
obuvunaanyizibwa obupya obumukwasiddwa.
Kajoba agenda kuweereza okumala emyaka etaano (2025- 2030). “Ekkanisa y’ensi yonna
emaze okuyisa enteekateeka nnamutaayika egenda okugobererwa mu myaka gino 5. Kye twetaaga okukola kwe kugonza enteekateeka eno etutuukireko bulungi. Obubaka bwange eri Ekkanisa ya Uganda kwe kufuba okulaba ng’ekiruubirirwa kino kituukikako,” Kajoba bwe yategeezezza.
EBIMUKWATAKO
lMufumbo eri Margret Kajoba n’abaana 6. lYatuula pulayimale mu 1972, ku Light And Grammar P/S, Katikamu. lMu 1994, yatuula S4 ku Luzira Lakeside College, mu 1997 yatuula S6 ku Chwa II Memorial College. Yafuna diguli mu kumanya ebyawandiikibwa
eby’eddiini (Bachelor of Theology) ku Bugema University mu 2000.
lMu 2009, yafuna diguli eyookubiri mu busumba (Master of Arts in Pastoral Theology ) ku Adventist University Of Africa (AUA) mu Nairobi.
lW’abeeredde Omulabirizi w’Obulabirizi bwa Central Uganda, abukulaakulanyizza ng’abuulira enjiri era ne bugaziwa okukkakkana nga muvuddemu obulabirizi obulala busatu okuli; East Buganda Field, West Buganda, ne North Buganda.
lYaweerezaako ku kitebe (Uganda Union Mision) nga dayirekita w’obuwanika n’akola nga omusumba ku kkanisa ya Najjanankumbi SDA, Masuulita SDA n’ewalala lOkuva mu 2016 okutuusa kati, ye dayirekita wa Central Uganda Conference. lMu 2011-2015, yali dayirekita wa Uganda Union lYasomesaako ku Light College Katikamu SS, n’abeera omumyuka w’akulira Namulesa SDA P/S. lYasomesa ku Gayaza Light SDA P