BADDEREEVA n'abagoba ba Bodaboda bakoze olutalo ku kitebe kya Kkampuni ya Wefunire Driving School ekisangibwa e Ntinda bwe bekalakaasa nga balumiriza abaddukanya Kkampuni eno okubajjako Ssente kyokka ne batabawa Driving Permit zaabwe zebaasasulira.
Abantu nga basazeeko ekitebe webagabira Driving Pamiti
By James Magala
Journalists @New Vision
BADDEREEVA n'abagoba ba Bodaboda bakoze olutalo ku kitebe kya Kkampuni ya Wefunire Driving School ekisangibwa e Ntinda bwe bekalakaasa nga balumiriza abaddukanya Kkampuni eno okubajjako Ssente kyokka ne batabawa Driving Permit zaabwe zebaasasulira.
Bano ababadde abatasalikako musale bagumbye munda mu Kikomera kya Kkampuni ya Wefunire Driving School e Ntinda nga bagamba nti baludde nga bewuuba ku wofiisi zino okunona Permit zaabwe nti eky'ennaku buli lwe bagendayo abaddukanya Kkampuni bababuzabuzabubuzabuza.
Baddereeva ababadde abadde abanyiivu ebitambika bakira baleekanira waggulu nga bagamba nti bakooye aba Traffic okubakwata olw'obutana ne Driving Permit kyokka nga baazisasulira dda ne belayirira obutava mu kifo kinoi okujjako babawadde Permit zaabwe.
Abantu nga basazeeko ekitebe webagabira Driving Pamiti
Abakozi mu Kkampuni ya Wefunire Driving Schools balabye baddereeva bongera kutabuka ne basalawo okubasibira munda mu kikomera ekyongedde okubatabula nga bagamba nti tebayinza kukkiriza kubajoogera oku Ssente zaabwe okukakkana nga babayitidde Poliisi.
Mu kaseera katono Poliisi y'e Ntinda nga ekulembeddwamu OC Moses Wegulo etuuse ne kakkanya embeera nga baddereeva banyonnyodde Poliisi obulumi bwebalimu nga bamulaze n'obupapula obwabaweebwa aba Wefunire Driving School gyebiggweredde ng'alagidde aba Kkampuni okukola ku nsonga zaabwe.
Ku lwa Kkampuni ya Wefunire Driving School Patrick Byabagambi omu ku bakola ku nsonga za Permit avumiridde ekya Baddereeva okwekalakaasiza ku wofiisi zaabwe n'ategeeza nti abo bonna abaasasula ne bamalayo baafuna Permit zaabwe nga agamba nti abakoze efujjo lino bangi bakyabanjibwa