Abaazaalibwa ne Siriimu bakooye eby'okubasosola

ABAVUBUKA abawangaala n'Akawuka akaleeta Mukenenya balaajanidde gavumenti ku bantu abeegumbulidde omuze gw'okusosola nga bagamba nti kino kiviiriddeko akawuka ka Mukenenya okwongera okusasaana mu bavubuka ensangi zino.

Okuva ku Kkono ye Ruth Awori akulira ekibiina kya UNYPA ekibudaabuda abavubuka abawangaala ne Mukenenya,Munnamateeka Noor Nakibuuka n'alabula abantu abasosola abantu abawangaala n'akawuka ka Mukenenya
By James Magala
Journalists @New Vision
ABAVUBUKA abawangaala n'Akawuka akaleeta Mukenenya balaajanidde gavumenti ku bantu abeegumbulidde omuze gw'okusosola nga bagamba nti kino kiviiriddeko akawuka ka Mukenenya okwongera okusasaana mu bavubuka ensangi zino.
 
Bano abeegattira mu kibiina kyabwe ki Uganda Network of Young  People Living with Aids  basinzidde mu lukungaana lwa Bannamawulire lwe batuuzizza ku kitebe kyabwe e Ntinda ne bavumirira abantu abegumbulidde omuze gw'okusosola.
 
Gloria Nawanyaga omu ku balozezza ku bulumi bw'okusosolebwa olw'okubeera n'Akawuka agambye nti okusosolebwa kubakosezza nnyo ng'abavubuka n'asaba  gavumenti okusitukiramu okulwanyisa omuze guno.
 
Ye Ruth Awori,akulira Uganda Network of Young People Living with Aids ayogedde ku zimu ku nsonga eziviiriddeko obulwadde bwa Mukenenya okweyongera mu bavubuka ensangi zino n'asaba Minisitule y'Eby'obulamu okukola kyonna ekisoboka okulabanga Mukenenya atuulibwa ku nfeete.
 
Wabula Munnamateeka Nakibuuka Noor Musisi,asinzidde eno agumya abantu abawangaala n'Akawuka nti Ssemateeka abawa eddembe okweyagalira mu Ggwanga lyabwe nga abantu abalala awatali kusosolebwa n'alabula bonna ababasosola nti Amateeka gajja kubakolako era n'akikaatiriza nti tebagenda kukoowa ku batwala mu mbuga z'Amateeka.