Abaasomerako e Kako banoonya za ggeeti

ABAASOMERAKO mu Kako SSS e Masaka batongozza okukolera essomero lyabwe pulojekiti ezenjawulo ezibalirirwamu obukadde bw’ensimbi era bayise abanene okuli Gen. Salim Saleh babakwatireko.

Aba KOSA okuli Pulezidenti waabwe Isaac Tewanga (ku kkono), Scovia Nabasibo omuwanika, Bob Luswata ne Stephen Kato nga batongoza enteekateeka.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAASOMERAKO mu Kako SSS e Masaka batongozza okukolera essomero lyabwe pulojekiti ezenjawulo ezibalirirwamu obukadde bw’ensimbi era bayise abanene okuli Gen. Salim Saleh babakwatireko.
Gen. Saleh bamwogeddeko ng’eyali omuyizi ku ssomero lino n’abalala bangi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo abali mu bifo ebyamaanyi. Nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Kako Old Students Association (KOSA) , baayanjudde pulojekiti nyingi kyokka nga batandikidde ku kuzimba ggeeti ey’omulembe.
Pulezidenti w’ekibiina, Isaac Richard Tewanga yagambye nti ggeeti egenda kumalawo obukadde bw’ensimbi 150 era baamalirizza dda okusondako obukadde 20 . “Tugenda kutema evvuunike mu bbanga lya mwezi era tusaba bannaffe abaasomerako mu Kako SSS batukwatireko tusitule essomero,” Tewanga bwe yagambye.
Yategeezezza nti basoose ne ggeeti okukyusa endabika y’essomero era bagenda kuzimbirako n’oluguudo ng’abayizi abayingira n’okufuluma buli omu akozesa ludda lwe. Baalaze ekifaananyi kya ggeeti ekisiige gye bagenda okuzimba era basuubira okugimaliriza mu mwaka gumu. Omukolo gw’okutongoza gwabadde ku Fair way Hotel wiiki ewedde. Abaakulidde omukolo pulezidenti Tewanga, omuwanika Scovia Nabisibo, akulira olukiiko oluzimbi, Bob Luswata n’akwanaganya abali ebweru w’eggwanga Stephen Kato