Abaami abafumbo bakuutiddwa okunywerera mu kkanisa baleme kutwalibwa muyaga gwa nsi

ABAAMI abafumbo bakubiriziddwa okunywerera mu kkanisa yaabwe baleme kutwalibwa muyaga ogujjudde mu nsi.

Abaami abafumbo bakuutiddwa okunywerera mu kkanisa baleme kutwalibwa muyaga gwa nsi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Amawulire #Namirembe #Kkanisa #Kutwalibwa #Baami

ABAAMI abafumbo bakubiriziddwa okunywerera mu kkanisa yaabwe baleme kutwalibwa muyaga ogujjudde mu nsi.

Abafumbo abaakungaanye. Mu byeru ye Rev Wasswa.

Abafumbo abaakungaanye. Mu byeru ye Rev Wasswa.

Bino byababuuliriddwa Rev. Kisawuzi Wasswa, omusumba w'e Lwadda mu Bussaabadinkoni bw'e Kazo mu Bulabirizi bw'e Namirembe.

Abakulembeze b'abafumbo abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Fathers' Union, mu bussaabadinkoni bw'e Gayaza baakung'aanidde mu maka g'Omwami n'omukyala Moses Sseppuuya e Lwadda ku Ssande ne basabirako wamu n'ab'omu maka gano nga bali ne bakyala baabwe.

Lwadda bwali Busumba obutwalibwa Gayaza okutuusa Omulabirizi Moses Banja lwe yatondawo Obussaabadinkoni obuggya okuli Kavumba ne Namugongo, olwo amakanisa agamu ne gadda mu Busumba n'obussaabadinkoni obulala. Bwe butyo, n'Obusumba bw'e Lwadda bwe bwazzibwa ate e Kazo.

Ssepya ne Mukyala we, abaakyazizza abafumbo.

Ssepya ne Mukyala we, abaakyazizza abafumbo.

"Mwebale kuzimba mukwano nga mukyaliragana. Ab'e Gayaza mwebale buteerabira Sseppuuya ne mujja okumukyalirako.

 Temuddirira mu mukwano era mbasaba munywere muleme kusagaasagana, musigale mu kkanisa yammwe ate n'ekibiina kyammwe ekya Fathers' Union mukinywereremu nga bwe musikiriza n'abalala okubeegattako," Rev. Kisawuzi bwe yabakuutidde.