EBIBUUZO ebikakali bye basoyezza abaagala okuweebwa kaadi z’ekibiina kya NUP ku mutendera gwa Palamenti bibakamudde abamu ne bafuluma akasenge nga baagala kuyunguka maziga n’abalala ne bategeeza nti, kyabadde kizibu ataabirabyeko okubiyita.
Abakulembeze abasoba mu 50 okuva mu konsitituwensi 7 ezikola disitulikiti y’e Wakiso be beetabye mu kusunsulwa eggulo. Bonna baakung’anidde ku kitebe kya NUP ekisangibwa e Makerere - Kavule ku lugenda e Bwaise.
Buli eyasaba okwesimbawo ku kaadi ya NUP ku kifo kya Palamenti yayitiddwa eggulo okubeerawo ku ssaawa 2:00 ez’oku makya n’ebiwandiiko by’obuyigirize ssaako ebisaanyizo ye by’awulira nti, by’ebigenda okumusobozesa okuddamu obulungi ebibuuzo.
Obwedda buli atuuka nga bamuwa akatebe mu weema ezassiddwaawo okutuulamu okulindirira obudde we banaabayitira.
Baatandikidde ku baagala ekifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso nga kwabaddeko; Ethel Naluyima (aliyo), Jackline Nantege, Juliet Nanteza ne Sylvia Namutyaba.
Omu ku bakyala bano (amannya gasirikiddwa) yavuddeyo mu kasenge nga yeesansabaga ng’alinga ayitiddwaamu musisi ng’alina n’ebiyengeyenge mu maaso.
Yeewunyizza nti, mu bibuuzo bye baamusoyezza kwabaddeko ebyasimbuddwa mu Ssemateeka w’eggwanga ne bamubuuza n’obuwaayiro mu Ssemateeka ne kye bwogera. “Kati nze ddala atali mubaka ombuuza otya obuwaayiro obwo!”
Mmeeya w’e Nsangi, Mathias Walukagga yavudde atenda nti, wadde akakasa nti, abiyise naye bibadde bizibu nga bigumu nga byetaaga omuntu omumanyi era omuyivu.
“Abaagala abaana bammwe bayingire ebyobufuzi musooke mubasomese. Ebintu byetaaga buyivu n’obumanyi,” Walukagga bwe yagambye ne yeewaana nti, yalyoka n’addayo okusoma.
Omubaka wa Busiro East mu Palamenti ekiseera kino, Medard Sseggona Akalyamaggwa, ye yasoose mu kasenge abalala abavuganya naye ku kkaadi okuli Mathias Walukagga, Emmanuel Magoola Matovu ne yinginiya Peter Lutwama ne baddako.
Sseggona yavudde mu kasenge nga yeesekera nti, ekifo ky’asaba era kyalimu akisobola bulungi tewali kibuuzo ky’asanze nga si kya bulijjo.
BUSIRO NORTH
Kaadi evuganyizibwako abantu 10 nga bonna baabaddewo n’omubaka Paul Nsubuga aliyo ekiseera kino. Abalala kuliko; Ronald Ssemaganda, Sadat Kalumba, Sadat Kiyingi, Hussein Kasiita, Josephine Namusazi, Angella Nankya, Abdul Tebandeke, Charles Ssenono ne Pius Ssentongo.
NANSANA
MUNICIPALITY
Ebibuuzo baabisoyezza abantu 4 abavuganya ku kaadi okuli; munnamawulire Zambaali Bulasio Mukasa, Ssentebe w’ekyalo Katooke, Stephen Kaweesa, Enock Kintu Musoke ne Ibrahim Mayanja amanyiddwa nga Big Eye.
Zambaali yagambye nti, yayingira ebyobufuzi ng’amaze okwetegeka mu buli kimu kubanga muyivu ate abadde mu bya bufuzi ekiseera kyonna era ebibuuzo tebibadde bya njawulo ku by’avudde emabega nga naye asoya bannabyabufuzi banne ku leediyo ne ttivvi.
KIRA MUNICIPALITY
Munnamateeka w’ekibiina, George Musisi, yatuuse mu kifo mu budde n’asooka yeetegeka bulungi era yagambye nti, emiramwa gyonna egyetaagisa omubaka wa Palamenti naddala mu kubaga amateeka by’alimu era bye yasoma. Yalaze nti, Ssemateeka yatandika dda okugisunsula era tewali kya njawulo kimubuuziddwa. Musisi avuganya ne Jimy Lukwago ku kkaadi.
BUSIRO SOUTH
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika, attunka ne Stephen Ssekigozi, Charles Matovu (aliyo kati), Saul Kikomeko ne Stephen Sserwanja. Bonna baabaddewo era Bwanika agambye nti, obumanyirivu bw’alina mu byobufuzi n’obuyigirize bimusobozesezza okuddamu ebibuuzo mu ngeri entuufu.
KYADONDO EAST
Omubaka Muwadda Nkunyingi ne Dr. Ali Ddamulira, ssaako Moses Kayanja, obwedda buli omu tatereera mu katebe.
Muwada obwedda awera nti, ye ebintu by’akoze byeyogerera byokka era abadde tasuubira muntu kuvaayo kumwesimbako naye wadde avuddeyo ekibiina n’ebibuuzo ebibabuuziddwa byonna bimusobozesezza okuwangula kkaadi.
Moses Kayanja yagendedde ku ggaali obwedda gye yeetoolooza nga bw’avumirira Muwada nti, talina ky’akoze ye y’asobola kyokka nga ne Muwada ayogera by’akoze okuli okuwolereza abakwatibwa kuno ne mu nsi z’e Buwalabu.