Aba UNRA n'abakulembeze be Lukaya batandise okusala entotto ku mazzi agatawaanya amasomer

AMAZZI agazinzeeko ekitundu kya Lukaya Town Council n'eggombolola y'e Bukulula mu Disitulikiti y'e Kalungu gasobedde abatuuze olw'okujjura mu gamu ku masomero,enguudo amayumba ga bizinensi n'agasulwamu.

Abakulembeze be Lukaya ne UNRA nga basala entotto
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
AMAZZI agazinzeeko ekitundu kya Lukaya Town Council n'eggombolola y'e Bukulula mu Disitulikiti y'e Kalungu gasobedde abatuuze olw'okujjura mu gamu ku masomero,enguudo amayumba ga bizinensi n'agasulwamu.
 
Embeera eno yawalirizza abakulembeze okuli ba Ssentebe b'amaggombolola gano okuli Charles Tamale owa Lukaya ne Husein Bazadde Kaweesa owa Bukulula wamu n'abatuuze okuyita ensisinkano ey'amangu ne ba Yinginiya b'ekitongole ky'enguudo ekya UNRA nti batemere wamu empenda naddala ku kizibu ky'ebbula ly'emyala egitambuza amazzi gano.
Amazzi nga gali ku ssomero

Amazzi nga gali ku ssomero

 
Baasoose kulambula ebitundu okuli Lutente,Juma Cell,Kalumba Estate,Kawanda n'oluguudo lwa Lukaya-Kagologolo amazzi gye mamidde ennyo ne gasannyalaza entambula ,eby'enfuna n'okuteeka obulamu bw'abatuuze naddala abaana abato mu katyabaga k'endwadde.
 
Mu lukiiko Ssentebe wa  Lukaya Tamale anenyezza aba UNRA ku nsonga y'emyala gy'enguudo egyaziba n'agamba nti abakozi be basindikira tebalumirirwa bantu ba kitundu nti bafa ku kimu kya kufuna ssente ne bafundikira nga bavumaganya Gavumenti mu bantu.
 
Ssentebe wa Bukulula Bazadde yasabye abatuuze okuzaawo enkola ya bulungi bwa nsi nti yemu ku ngeri ennyangu gye basobola okweyambisa okuziyiza n'okumalawo obuzibu buno.
 
Abatuuze abalala bekokkodde abamu ku bakulu ku kkanso obutagoberera nkola ya mirimo entuufu naddala mu kulungamya abatuuze ku ngeri gyebalina okuzimba ebizimbe nga n'amazzi bagawadde amakubo mwe galina okuyita, kye bagamba nti kye kivuddeko embeera eno.
Omwana ng'ali mu mazzi

Omwana ng'ali mu mazzi

 
Gilbert Mubangizi owa UNRA yawadde abatuuze n'abakulembeze amagezi ku ngeri y'okwewalamu omujjuzo gw'amazzi n'abasaba okwewala okuzibikira amakubo gaago,ate munne Boaz Kazibwe baagumizza nti bagenda kutandika mbagirawo omulimo gw'okutema emikutu n'okuteeka ebigoma mu bitundu by'enguudo ebiri obubi nti amazzi gasobole okutambula.
 
Omuwabuzi wa Pulezidenti owokuntikko Vincent Bamulangaki Ssempijja era omutuuze mu kitundu kino,yategeezezza nti wateekwa okubaawo enkolagana eya wamu mu batuuze bonna okusobola okumalawo obuzibu bw'amazzi,n'asiima aba UNRA okusitukiramu amangu ku mbeera eno.