OMWOGEZI w'ekitongole Kya UEDCL John Kizza alaze ekitongole byebatuseeko mu nnaku 165 nga basasaanya amasanyaleze mu gwanga.
Agamba basobodde okuwandiisa abakozi n'okukyusa transfer ezirina obuzibu. Agamba nti bakawayalinga abantu 15,000 n'okutereeza abo abali beegatta ku masanyalaze mu bukyamu.
Agamba nti basanze obuzibu bw'abantu abakozesa amasanyaleze mu bukyamu nga ne gyebuvudeko waliwo omuntu eyafira ku kikondo Kya masanyalaze bweyali agezaako okwegata ku masanyalaze.
Agamba nti batandise kaweefube w'okuwandiisa abantu abeyunga ku masanyalaze mu bukyamu era mu bang lya wiiki 2 bakakola ku bantu 15,000.
Agamba nti obubi bwa waya z'amasanyalaze okufa. Agamba nti abantu abasala emitti nabo baviriddeko amasanyaleze okuvako.
Agamba nti embuyaga ne mbeera ye mitti nayo eviriddeko amasanyaleze okuvaako. Agamba nti ne ba kamyufu nabo baviriddeko amasanyaleze okuvako. Asabye abesombyewo obutateeka bipandde ku masanyalaze.