Poliisi eyongezza ku kirabo kya ssente eri oyo anaazuula omutemu eyatta abafumbo ababiri e Ntebe

Poliisi eyongezza ku kirabo kya ssente eri oyo anaazuula omutemu eyatta abafumbo ababiri e Ntebe. 

Poliisi eyongezza ku kirabo kya ssente eri oyo anaazuula omutemu eyatta abafumbo ababiri e Ntebe
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Poliisi eyongezza ku kirabo kya ssente eri oyo anaazuula omutemu eyatta abafumbo ababiri e Ntebe. 

David Mutaaga ne mukyala we Debra Florence Mutaaga, battibwa gyebuvuddeko mu maka gaabwe e Nakiwogo Kiwafu e Ntebe, omutemu bwe yabafumita ebiso.

Mu kusooka, poliisi yassaawo obukadde 50 eri oyo anazuula eyabatta. 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti ,kati ekirabo kituuse ku shs obukadde 60 eri amanyi amayitire g'omutemu. 

Agasseeko nti baliko abantu bebazze bakwata okuyambako mu kunoonyereza naye ng'omutemu yennyini, tannakwatibwa.