Akulira okuwandiisa mu kitongole Kya NIRA Olama Claire agamba nti abantu obukadde 12 bebakewandiisa okuzza obuggya endagamuntu. Bino byogeddwa mu lukung'aana lwa banamawuliire ku kitebe Kya poliisi e Naguru.
Agamba nti mweralikirivu kuba omuwendo gw'abantu abakewandiisa mutono nyo. Agamba nti basembezza okuwandiisa abaana mu malwaliro gyazalibwa okufuna birth certificate ne NIN. Asiimye abazadde okuwandiisa abaana era n'asaba abatannaba ku wandiisa baana okugenda okwewandiisa.