NG'ABAANA badda ku masomero, poliisi esabye abagaddukanya, okwetegereza abantu abatwalayo abaana n'okubakimayo.
Mu ngero y'emu era, poliisi esabye abaddukanya amasomero, okwekebejja ennyo emigugu gy'abaana nga b'akatuuka, okwewala ebintu ebiyinza okuvaako omuliro n'ettemu nga bali ku ssomero.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti ,bafunye egimu ku misango ng'abaana babbibwa okuva ku masomero oluusi nga kiva ku ntalo eziri mu maka, maama bw'abeera tategeeregana ne Taata.
Annyonnyodde nti mu mbeera bw'etyo, abaddukanya amasomero, balina okussaawo obukwakkulizo obw'amaanyi eri oyo alina okutwalayo omwana n'okumukimayo.
Mu kusooka, Kituuma asabye ab'amasomero, okwanguyira nga okulongoosa embeera etali nnungi ku masomero, okwewala okwekalakaasa mu baana ne batuuka n'okwonoona ebintu.
Abasabye okugondera ebiragiro ebyassibwawo , okukuuma abaana , n'abazadde nabo n'abasaba okukola obuvunaanyizibwa bwabwe