Poliisi eyongedde ku ssente z'omuntu ayinza okubawa obujuli ku ttemu ery'akolebwa ku bafumbo e Ntebe

OMWOGEZI wa poliisi mu gwanga ACP Rusoke Kituma alabudde abazadde okubeera abegendereza nga bagenda okusasula ebisale bye somero mu bank. 

Rusoke ng'annyonnyola
By Sulaiman Mutebi
Journalists @New Vision

OMWOGEZI wa poliisi mu gwanga ACP Rusoke Kituma alabudde abazadde okubeera abegendereza nga bagenda okusasula ebisale bye somero mu bank.

Bino abyogeredde mu lukung'aana lwa banamawulire olutuula ku kitebe Kya poliisi e Naguru okulambika embeera ye byokwerinda mu gwanga.

Rusoke asabye abazadde okukkaanya n'ebananyini masomero ku ani alina okukima abaana ku somero. Asabye amasomero okukebeera ku byuma ebizikiza omuliro. Asabye bananyini masomero okuzibikira ebinya byona ebiri ku somero. Asabye abakulira amasomero okwongera okunweza eby'okwerinda n'okwaza nyo kkeesi.

Akubirizza abayizi okukomya omuze gw'okwekalakasa kuba bimenya mateeka. 
Rusoke alambuludde ku Poliisi wetuuse mu kunonyereza ku bafumbo David Mutaga ne Mukyalawe Debrah Florence Mutega bebaatemulira mu maaka gaabwe e  Ntebe. 

Agamba nti Poliisi ekutte abantu bangi naye bonna bebakwata tebalina bujulizi bubalambika.

Agamba nti Poliisi eyongedde ku kasiimo kebaateekawo ku muntu awa police amawulire agakwata ku mutemu eyatemula abafumbo bano.

Rusoke mu ngeri yeemu alambuludde ku kwemulugunya kw'abekibiina kya NUP abalumiriza ebitongole by'okwerinda okuwamba abantu.

Rusoke agamba nti Poliisi tewamba bantu wabula eyita mu mateeka okukwata abamenyi bamateeka. Agamba nti Poliisi ya kakwata bannakibiina Kya NUP 10 nga 9 ku bano batwalibwa mu kooti ng'asembayo bamutwala lunaku lwaleero.

Agamba nti abamenyi bamateeka tebagenda kusaliwo bitongole by'okwerinda engeri yaa ku bakubakwatamu. Rusoke akubirizza abantu okukomya okumenya amateeka bwebabeera tebaagala ku kwatibwa.