Poliisi eyongedde ssente ku batta abafumbo b’e Ntebe

POLIISI erinnyisizza ssente ez’okuwa omuntu anaayamba ebitongole by’okwerinda okukwata abatemu abatta omwami n’omukyala abaali baakava ku kyeyo e Switzerland gye baali bamaze emyaka egisukka mu 30.

Poliisi eyongedde ssente ku batta abafumbo b’e Ntebe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI erinnyisizza ssente ez’okuwa omuntu anaayamba ebitongole by’okwerinda okukwata abatemu abatta omwami n’omukyala abaali baakava ku kyeyo e Switzerland gye baali bamaze emyaka egisukka mu 30.
Abafumbo David Mutaaga,69, ne mukyala we Deborah Florence, 62, abaali bamaze emyaka egisoba mu 30 e Zurich mu Switzerland baatemulwa nga July 6, 2025 mu maka gaabwe e Lugonjo-Nakiwogo mu munisipaali y’e Ntebe.
Poliisi erinnyisizza ssente okuva ku bukadde 50 okutuuka ku bukadde 60 ez’okuwa omuntu yenna alina amawulire aganaagituusa ku batemu.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti, abaserikale bali ku muyiggo gw’okuzuula abatta abafumbo bano.
Yagambye nti, poliisi ng’ekolaganira wamu n’ebitongole by’okwerinda ebirala eriko abantu b’ezze ekwata wabula nga omutemu yennyini tannakwatibwa, n’asaba abantu okuyambako poliisi mu kugiwa amawulire aganaabatuusa ku mutemu yennyini era nga kino kye kyawalirizza ekitongole ekinoonyereza ku misango okulinnyisa ekirabo ekyassibwawo okuzuula omutemu okuva ku bukadde 50 okutuuka ku bukadde 60.
Yategeezezza nti, abakwatiddwa mu bikwekweto baabuuziddwa oba balina kye bamanyi ku ttemu lino, ne kizuulwa nga tebalina era abamu ne bateebwa nga kati bakyanoonya abatemu bennyini