Kkampuni ya Star Times, ekyagenda mu maaso n'okuteeseganya ku bintu eby'enjawulo ne kkampuni ya Vision Group , mu kaweefube w'okutumbula omutindo mu nkola y'emirimu n'okunyweza enkolagana.
Akulira Vision Group, Don Wanyama ng'akwasa Xinxing Pang ekirabo oluvannyuma lw'ensisinkano.
Mu mwezi oguwedde , amyuka President wa Star times mu nsi yonna Eric Xue okuva e China n'abakungu abalala okuli Bruce Ogasi akulira Star times mu Uganda , beetaba mu nsisinkano eyali wano ku kitebe kya Vision group e Lugogo ne babaako ebintu bingi bye baakubaganyaako ebirowoozo.
Olwaleero ,ssentebe wa Startimes Group, Xinxing Pang, ng'ali n'abakungu abalala aba kkampuni eyo, nabo basisinkanye akulira Vision Group Don Wannyama ne ttiimu ye, ne babaako bye bakkaanyaako leero.
Omukung'aanya wa Vision Group ow'oku ntikko, Barbara Kaija ng'ayaniriza aba Startimes.
Ensinsinkano eno, yeetabiddwamu omukung’aanya ow’oku ntikko Barbara Kaija, n'abakulembeze b'emikutu egy'enjawulo era ne boogera ku nsonga eziwerako.
Akulira radio ne TV za Vision Group , Moses Atenyi, ayiseeyise mu ebyo ebituukiddwako era n'asuubiza abawuliriza n'abalabi nti baakuganyulwa nnyo mu nteeseganya zino.