Bannamukisa 40 bakwasiddwa ebirabo bye baawangudde mu kalulu ka Bukedde ng'ejaguza emyaka 30!

LIBADDE ssanyu jjereere, bannamukisa abasoba mu 40, bwe babadde bakwasibwa ebirabo byabwe leero wano ku kitebe kya Vision Group awali ne Bukedde.

Bannamukisa 40 bakwasiddwa ebirabo bye baawangudde mu kalulu ka Bukedde ng'ejaguza emyaka 30!
By Joseph Mutebi ne Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Bukedde #Birabo

LIBADDE ssanyu jjereere, bannamukisa abasoba mu 40, bwe babadde bakwasibwa ebirabo byabwe leero wano ku kitebe kya Vision Group awali ne Bukedde.

Abawanguzi okuva mu bitundu eby'enjawulo, baawangudde ebirabo ebiwerako mu kalulu k'ebikujjuko  by'olupapula lwa Bukedde okuweza emyaka 30 nga luweereza abantu.

Ssennyonga owa B.H Clara ng'akwasa Ssebunnya ne mukyala we ekyapa ky'ettaka.

Ssennyonga owa B.H Clara ng'akwasa Ssebunnya ne mukyala we ekyapa ky'ettaka.

Akalulu kaazannyiddwa ku Lwokusatu lwa wiiki eno, era abawanguzi ne bakima ebirabo byabwe leero ku Lwokuna.

Ku bano, kuliko omuvuzi wa bodaboda Godfrey Kibirige Ssebunnya, awangudde ekyapa ky'ettaka ekyatuweereddwa bannaffe aba B Clara H property Services nga liri Namayumba .

Bano be baawangudde ppikippiki.

Bano be baawangudde ppikippiki.

Abawanguzi abalala, kuliko Rose Kalema okuva e Ntebe, Prisika Musinguzi ow'e Kiziranfumbi Hoima n'abalala babiri, abawereddwa pikipiki okuva mu bannaffe aba Simba Automotives.

Ebirabo ebirala bingi omuli ttivvi , solar panel n'ebisowaani okuva mu star times, biwanguddwa nga bibakwasiddwa amyuka Pulezidenti wa Startimes mu Uganda, Kenneth Kazooba.

Omu ku bawanguzi eyafunye dikooda ya startimes ne ttivvi ng'essanyu libula okumutta.

Omu ku bawanguzi eyafunye dikooda ya startimes ne ttivvi ng'essanyu libula okumutta.

Abalala, bawangudde ebirabo okuva mu Prestige Margerine , n'abalala ne beewengulira olugendo lw'okugenda e Masaka bawummulire mu Masaka Cultural Resort Hotel ennaku bbiri n'abaagalwa baabwe.

Abawanguzi abalala abaafunye ettu okuva mu Chapa enterprises.

Abawanguzi abalala abaafunye ettu okuva mu Chapa enterprises.

Micheal Mukasa Sebbowa akulira olupapula lwa Bukedde, yeebazizza abo bonna abeetabye mu kalulu kano era n'asuubiza n'ebirala bingi nti bikyajja.

Abataddemu ssente okuli aba B Clara H property Service, Star times, Aba Simba Automotives , Chapa Enterprises , n'abalala, basiimye Bukedde olw'enteekateeka eno.

Maama ng'atwala dikooda ya startimes ne ttivvi bye yawangudde.

Maama ng'atwala dikooda ya startimes ne ttivvi bye yawangudde.