Oluvannyuma lw’okumala omwaka gumu gwokka mu liigi ya babinywera eya StarTimes Uganda Premier League, ttiimu ya Blacks Power yalangiriddwa nga bw’ezze mu kibinja eky’okubiri oluvannyuma lw’okukubwa SC Villa ku Lwokubiri.
Ttiimu Ya Black Powers
Blacks Power eyeegatta mu liigi sizoni ewedde nga kyampiyoni wa Big League mu sizoni ya 2021-22 yasaliddwako olw’omutindo ogw’ekiboggwe.
Hussien Mbalangu omutendesi wa ttiimu eno, ku Lwokubiri yawootokeredde ku kisaawe oluvannyuma lwa ddiifiri Hakim Kimayo okukommonta ffirimbi esemba nga ttiimu ye emuyiyeeyo.
Charles Bbaale ye yakomeredde Blacks Power okudda mu Big League olwa ggoolo gye yateebye okuwa ttiimu ye obuwanguzi ku kisaawe e Wankulukuku.
Blacks Power yeegasse ku Onduparaka eyalangirirwa wiiki ewedde bwe yakubwa Maroons e Luzira ggoolo 1-0. Ttiimu zino zonna z’engulu okuli Lira ne Arua.
Blacks Power yamazeeko liigi n’obubonero 23 so nga yo Onduparaka ebadde yaakamala emyaka musanvu mu liigi yamazeeko n’obubonero 19.