Bano nga bakulembeddwamu Pulezidenti w'ekibiina kya NEED Joseph Kabuleta basinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe batuuzizza ku kitebe kyabwe e Bugoloobi ne balaga okunyolwa olw'okufa kwa Jakana Nadduli ku myaka emito.
Jakana abadde munnabyabufuzi omwatiikirivu ennyo olw'obuvumu n'eddoboozi ery'amaanyi ly'abadde ayogeza ng'avumirira ebikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu nga mu kumukungubagira Kabuleta yategeezezza nti eggwanga lifiiriddwa mwoyo gwa ggwanga kubanga abadde teyekkiriranya.
Kinajjukirwa nti Jakana yakwatibwako gye buvuddeko era n'asimbibwa mu kkooti ku byali bigambibwa nti yakuma mu bantu omuliro olw'obutambi bwe yafulumya ku mitimbagano mu kiseera Gen. Elly Tumwine we yafiira kyokka n'ayimbulwa mu mwezi gw'omwenda olw'embeera y'obulamu bwe etaali nnungi olw'akabenje ke yali yafuna.
Kyokka Kabuleta ne bannakibiina kye, basabye Gavumenti ekole okunoonyereza okumala ku ki ekyaviiriddeko okufa kw'omwana wa mulwanyi munnaabwe Hajji Nadduli era bafulumye alipoota ennambulukufu era ne basaasira Hajji Nadduli olw'okufiirwa mutabani.
Bano era balajanidde Gavumenti eyongere ku muwendo gwa Ambyulensi ezitwala abalwadde mu malwaliro naddala mu disitulikiti ezassiddwa ku muggalo okuli; Mubende ne Kassanda kiyambeko abantu abeetaaga obujjanjabi obw'amangu okuddusibwa mu malwaliro mu budde kiyambeko kiziyize abakyala b'embuto okufa olw'omuggalo.
Omugenzi Jakana Nadduli agenda kuziikibwa leero ku bijja bya ba Jjajjaabe mu disitulikiti y'e Luweero.