ABAKRISTU okuva mu bigo eby’enjawulo mu Eklezia bongedde okuwagira enteekateeka z’ebikujjuko eby’emyaka 100 egya Lutikko y’e Lubaga bukya etuukuzibwa.
Eggulo Abakristu abakulembeddwaamu ba Bwannamukulu okuva mu bigo ebikola Vikaliyeeti y’e Mitala Maria balamaze ku Lutikko e Lubaga ne bawaayo obukadde 36, mu nteekateeka eno ze bakwasizza Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere.
Ebikujjuko bino bya kutambulira ku mulamwa ogugamba nti, “Ekiggwa kya Katonda kituukuvu, Ekiggwa ekyo ye mmwe” nga byakubeerawo nga October 26, omwaka guno.
Ab’e Katende ne Muduuma baawaddeyo obukadde 5, buli omu, Kitakyusa ne Mitala Maria obukadde 3, buli omu ng’omubaka wa Mawokota North Hillary Kiyaga yawaddeyo akakadde 1, Ssaabakristu wa Uganda n’olukiiko lwe Gervase Ndyanabo akakadde kamu n’abalala.
Bano beegattiddwaako ebitongole eby’enjawulo mu kulamaga kuno n’Abakristu ssekinnoomu, ng’aba Lubaga Cathedral Foundation abaawaddeyo 22,400,000/-, Abakristu aba bulijjo obukadde 7.
Ssaabasumba Ssemogerere yagambye nti, Eklezia ekyali ya maanyi n’asaba Abakristu okukomya okwenyooma n’okumanya nti, buvunaanyizibwa bwabwe okugiyimirizaawo nga batoola kw’ebyo Omukama by’abawadde okuwagira emirimu gye.
Yeekokkodde Abakristu abakodo n’agamba nti, abamu batuuse n’okuteekawo abakuuma ebisenge mwe batereka ssente, ne yeebaza olukiiko oluteesiteesi na bonna abawadde olw’enteekateeka eno.
Akulira olukiiko olunoonya ssente, John Fred Kiyimba (Free Man) yategeezezza nti, baakakuhhaanya akawumbi kamu n’obukadde 400 ku buwumbi bubiri n’obukadde 450 ezeetaagibwa.
Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi, Ying. Pius Mugalaasi Mugerwa yagambye nti, enteekateeka we zituuse zizzaamu amaanyi olw’obuwagizi bwe bafunye okuva mu bantu ab’enjawulo.
Ng’oggyeeko okuddaabiriza Lutikko, bali mu kuzimba paakingi ey’omulembe ey’ekijjukizo, okuyooyoota ekifo kyonna nga bakiteekamu amataala, ebifo Abakristu we batuula nga beegayirira, okuyooyoota ebiggya bya Bassaabasumba mu Lutikko n’okusima entaana endala ssatu, ssaako ebiggya bya basosodooti ebiri ebweru, okuteekawo ebibumbe by’ebijjukizo by’abaaliko Bassaabasumba ba Lutikko 12, okusiiga langi n’ebirala.
Enteekateeka z’okulamaga zikyagenda mu maaso nga September,10 abasosodooti n’ebitongole by’obutume byonna mu Ssaza bya kulamaga nga September 17, amasomero n’amatendekero ate nga September 24, abafumbo abagattibwa mu Lutikko, Bayozefu n’abayizi ba Lubaga Girls.