Aba Luzinga SS beetisse Busoga mu za Green Schools ez’okukubaganya ebirowoozo ku nkyukakyuka y’obutonde

Abayizi ba Luzinga senior secondary school e Kamuli bawangudde okubbinkana kwa masomero okw’okuteesa ku nkyukakyuka y'obutonde bw’ensi 

Aba Luzinga SS beetisse Busoga mu za Green Schools ez’okukubaganya ebirowoozo ku nkyukakyuka y’obutonde
By Grace Namatovu ne John Eremu
Journalists @New Vision
#Amawulire #Busoga

Abayizi ba Luzinga senior secondary school e Kamuli ng’abasinga baabadde ba S6 baleebezza bannaabwe aba Jinja College okutuusa lwe babawangudde mu kubbinkana kwa masomero okw’okuteesa ku nkyukakyuka y'obutonde bw’ensi okwabaddewo ku Mmande nga June 5, 2023. Essanyu nga libula okutta aba Luzinga ss

Essanyu nga libula okutta aba Luzinga ss

Empaka zino zeetabiddwamu amasomero 8 okuva mu kitundu eky’e Busoga era aba Jinja College abaazitegese ne bakwata ekyokubiri, olwo Naminyagwe Muslim SS Bugiri n’edda mu kyokusatu.

Pulojekiti ya Green Schools ey'okutaasa obutonde ekulembeddwa kkampuni ya New Vision ebunyisa enjiri eno mu masomero ga Siniya 100 okwetooloola Uganda ng'eri wamu n'ekitongole kya Food and Agriculture Organisation eky'ekibiina kya mawanga amagatte akya United Nations nga bivujjirirwa ekitebe kya Buswidi mu Uganda (Swedish Embassy).

Mercy Barbra Atim, omu ku basazi b'empaka zino.

Mercy Barbra Atim, omu ku basazi b'empaka zino.

Pulojekiti eno kitundu ku kkampeyini egendereddemu okumanyisa abantu ku nkyukakyuka eziriwo mu buttoned bw’ensi n’engeri gye basobola okunogera ekizibu kino eddagala.

 

Mu mpaka zino era, Daniel Gumperom , omuyizi owa siniya eyookusatu ku Pilkington College, Jinja, yalondeddwa ng’omubbinkanyi eyasukkulumye ku banne. Aba Uganda Dialogue Arena  be basazi b’empaka zino eziyindira mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.