GABADDE maziga,na biwoobe mu kusabira omubiri gwa badde omusomesa w'essomero lya Seeta High School ku ttabi lye Mbalala Ivan Oloya eyatiddwa olw'omukaaga bweyabadde adda mu makage e Bajjo, mu Nyenje Ward, Goma division ye Mukono gyabadde asula ne mukazi we Aber Mercy Omusomesa ku Code High School.
Ono yalambiddwa ku ssawa musanvu n'ekutundu ogw'ekiro abantu abaabadde bava ku mufu era bwebatyo ne batemya ku poliisi era abantu bataano baakwatiddwa omuli n'omwana owemyaka 16.
Omubiri gw'omugenzi gutusiddwa ku ssawa ssatu ku kelezia ya St Paul e Mukono Wakati mu maziga okuva mu b'eganda,abayizi, abasomesa, abakozi saako ne Namwandu.
Nnamwandu w'omugenzi ng'ayoza ku mmunye
Akulembeddemu okusabira omubiri gw'omugenzi nga ye y'akulira eby'ediini mu masomero nga Seeta High Schools Rev Fr Peter Ntege Lwazzi atendereza omugenzi nga bwabadde omusajja okola emirimu gya Mukama obutebalira, omumalirivu, saako n'okwagala omulimu kubanga yabadde omu ku basomesa ba History abasinga obulungi mu ggwanga.
Ono era akuutidde abakungubazi okuteekateekaga obulamu bwabwe, nga bakola ebyo ebireka omukuluulo, okwagala, okubeera ab'emirembe ssaako n'okwewala entalo.
Abayizi abaliyo n'abasomerayo batendereza omugenzi olw'ekitone ky'okusomesa era nga yabasomesa essomo lye byafaayo, bano wakati mu maziga boogedde ku kaseera k'omugenzi akasembyeyo bweyasoose okubala firimu ye byafaayo eyamuggyeewo ekikeerezi.
Abayizi Oloya baabadde asomesa nga bakaaba
Mu bubaaka bwa Minister wa matendekero agawagulu era nga ye mutandisi wa Seeta Schools Dr JC Muyingo nga bumusomeddwa omukulu w'essomero lya Seeta High Green Campus Paul Alibundi atenderezza amaanyi n'obukugu omugenzi bwataddemu ng'abangula abayizi nti bakubisuubwa ng'esomero, era naasasira abenju y'omugezi era naasubiza okusigala nga batambulira wamu.
Omugenzi affiridde ku myaka 30 nga yazalibwa nga 25/12/1995 era yatiddwa nga 21/3/2025, ya somero ku Gulu University ng'eno gyeyava mu August 2019 nafuna omulimu gwe okwasoka St John Bosco Seminary e Hoima nadda ku St Peters Bombo n'oluvanyuma nadda ku Seeta High